Amawulire

Omubaka ayagala okuttibwa kwa Okello kwanguyizibweko

OMUBAKA wa Bugangaizi East County, Onesimus Twinamasiko, asabye gavumenti okwanguya okuttibwa kwa Christopher Okello Onyum, eyasingisibwa omusango gw’okutta abaana abato abana mu April 2026 n'asalirwa ekibonerezo ky'okufa.

Omubaka ayagala okuttibwa kwa Okello kwanguyizibweko
By: Aminah Shakirah Nalugo, Journalist @New Vision

OMUBAKA wa Bugangaizi East County, Onesimus Twinamasiko, asabye gavumenti okwanguya okuttibwa kwa Christopher Okello Onyum, eyasingisibwa omusango gw’okutta abaana abato abana mu April 2026 n'asalirwa ekibonerezo ky'okufa.

‎Bino yabyogedde bwe yabadde mu lutuula lwa palamenti ku Lwokusatu ababaka bwe baabadde boogera ku nsonga eziruma eggwanga.

‎Amyuka ssaabawolereza wa Gavumenti (Kyaka South County), Jackson Karugaba Kafuuzi, yamwanukudde n’agamba nti ekibonerezo ky’okufa kirina okusooka okukakasibwa kkooti ensukkulumu (Supreme Court) nga tekinnaba kuteekebwa mu nkola.

Tags:
Amawulire
Palamenti
Omubaka
Bugangaizi