Amawulire

Tekinologiya alinga mmotoka bw'ogikozesa obubi ekutta - Katikkiro Mayiga

KATIKKIRO wa Buganda Charles Peter Mayiga akubirizza abavubuka okwetanira okuyiga n’okukozesa omutimbagano batambule n’omulembe oguliwo.

Efaananyi kya bonna
By: Dickson Kulumba, Journalist @New Vision

KATIKKIRO wa Buganda Charles Peter Mayiga akubirizza abavubuka okwetanira okuyiga n’okukozesa omutimbagano batambule n’omulembe oguliwo.

Mayiga agamba nti enkyukakyuka kati eriwo mu nsi yakukozesa mutimbigano okutumbula bizinensi, emirimu, obumanyi, ate n’okukola ssente nga lino ekkubo buli muntu lyakutte.

Katikkiro Charles Peter Mayiga

Katikkiro Charles Peter Mayiga

“Abavubuka mbakubiriza okwetanira emitimbagano kubanga enkyukakyuka bwezijja gwe n’ozesulubabba zo zijja kukukyusa mu ngeri gyotayagala. Mwe kyemulina okukola kwe kukozesa bulungi enkyukakyuka zino,” Mayiga bwasabye abavubuka.

Katikkiro asisinkanye abawerekeddeko Mzeei Magala

Katikkiro asisinkanye abawerekeddeko Mzeei Magala

Bino okubyogera abadde asisinkanye Munnamutimbagano Magala Musajjalumbwa bangi ku mikutu gino gwebamanyi nga Muzeeyi Magala ng’ensisinkano ebadde Bulange-Mmengo n’ayongera okubalabula obutagukozesa bubi okuli okuwemula, okusasanya obulimba, okulwana entalo n’ebirala.

Katikkiro nga alamusa Munnamutimbagano Magala Musajjalumbwa

Katikkiro nga alamusa Munnamutimbagano Magala Musajjalumbwa

“Tekinologiya alinga mmotoka bw'ogikozesa obubi ekutta,” Mayiga bwalabudde abavubuka ku nkozesa embi eya tekinologiya n’emitimbagano egiriwo kati.

Katikkiro Mayiga alabudde Mzeei  Magala ku nnyama gy'alya  eyitiridde  

“Wegendereze ennyama  gy'olya. Enyama ewooma nnyo naye lya ntonotono obeere mulamu osobole okuwereeza Kabaka. Ennyama girye naye kendeeza, lya nsaamusaamu,” Mayiga bwagambye.

Mzeei Magala ne Katikkiro

Mzeei Magala ne Katikkiro

Amusabye okukola ku dduyiro okusobola okukendeeza omubiri, okwongera okutambulira mu bumanyi, okwetanira okusoma ate n’okunyweza emirimu egyo gyatandiseewo.

Minisita w’amawulire n’okukunga abantu mu Buganda, Israel Kazibwe ayogedde ku Magala ng’omuntu awa eky’okulabirako buli muntu mu Buganda bwalina okweyisa ng’asinzira waali neebyo byakola okulwanirira Obwakabaka nga Magala bwakola ng’ayita ku mikutu gye egy’omutimbagano.

Katikkiro Mayiga ng'ali mu kifananyi ne Muzeeyi Magala ne Mukyala we

Katikkiro Mayiga ng'ali mu kifananyi ne Muzeeyi Magala ne Mukyala we

Mu kwogerako kwe, Magala abuulidde Katikkiro nga bweyawebwa omulimu n’obuvunanyizibwa bw’okulwanirira Obwakabaka bwa Buganda ng’ayita ku mikutu gye egy’omutimbagano ate n’okusomesa ebyafaayo bya Buganda eri abantu.

“Nkwebaza Katikkiro okubeera omukulembeze asembeza buli muntu okuli nange omuntu wawansi gwokyazizza leero,” Magala bwayogedde.

Baaweerekeddeko Mzeeyi Magala

Baaweerekeddeko Mzeeyi Magala

Magala azze n’Omubaka wa Katikamu North Denis Ssekabira, abayimbi okuli Messach Ssemakula, Ronald Mayinja, Princess Amirah, Mukyala we n’abaana be, Diana Nabatanzi n’abalala bangi.
Tags:
Buganda Charles Peter Mayiga
Munnamutimbagano
Musajjalumbwa
Mzeei Magala