OKUZIMBA amasiro kuwedde mu butongole n'omukolo gw'okusala ekisasi ky'enju Muzibu-Azaala- Mpanga.
Ekisasi ky'ekifo oba omulyango awayingira munda mu nju eno omuggalamidde Bassekabaka ba Buganda bana okuli Muteesa I, Mwanga II, Daudi Chwa II ne Muteesa II.

Enju Muzibu-Azaala-Mpanga nga bwefanana kati
Katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayiga yalangirira nga December 12,2025 ng'omulimu gw'okuzimba amasiro gano bwegwaali gumaliriziddwa kyokka nga wabulayo omukolo gw'okusala ekisasi gwokka.
Omukolo gw'okusala ekisasi kino gukoleddwa Mugema w'amasiro ga Bassekabaka Ssebunza Ssentongo ng'ono alangiridde ng'enju eno bwemaliriziddwa oluvanyuma lw'okugikolako emikolo.

Mugema ng'akola omukolo gw'okusala ekisasi
Okutandika omukolo guno,
Nnaalinya w'amasiro gano Beatrice Namikka amukwasiza ebikozesebwa okubadde embugo, obwambe, kakubansiri n'ebirala.
Omukolo guno gwatandise ku ssaawa 10 ez'okumakya nga bukya era weziweredde 11 ez'okumakya nga gumaliriziddwa olwo n'atandika okukansira ekifo kino n'emirala egitali gya lwaatu negitandika.

Nnaalinya Namikka ng'akwasa Mugema w'amasiro ebikozesebwa
Mugema era alaze essanyu nti omulimu guwedde neyeebaza abantu olw'obugumikkiriza era olumaliriza Nnaalinya Namikka n'amukwasa ekita ky'omwenge, sseddume w'ente, amatooke n'ebirala ng'akabonero k'okusiima okuva ewa Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II olw'okukola omulimu guno.

Ente eyawereddwayo oluvanyuma lw'okusalibwa kw'ekisasi ky'enju Muzibu-Azaala-Mpanga
Ye Hajj Kaddu Kiberu abadde ssentebe w'Olukiiko Oluzimba amasiro gano agambye nti ebikoleddwa byonna bigoberedde emitendera emituufu y'ensonga lwaki omulimu gumaze emyaka egisobye 13.
Omukubiriza w'Olukiiko lwa Buganda Patrick Mugumbule wamu ne Minisita w'obuwangwa, Dr. Anthony Wamala batuuse oluvanyuma ng'obudde bukedde nebeebaza omulimu omuyonjo ogukoleddwa nga gutumbudde ekitiibwa kya Buganda n'okulaba abantu nti okugoberera ennono kusobola okuvaamu ebirungi bingi singa bubeera bikozeseddwa.
Emikolo egiwerako gikoleddwa okuli abantu okuva mu bika eby'enjawulo okwanjula abazaana abagenda okukola obuvunanyizibwa mu masiro.

Omukolo gw'okusala ekisasi kya amasiro gukoleddwa Mugema w'amasiro ga Bassekabaka
Muteesa I yakuba Olubiri luno olw'e Kasubi mu 1882 nga yalinamu abakyala 84 kyokka mu 1884 yakisa omukono negafuuka amasiro.
Abakyala bano basikirwa era batuukiriza obuvunanyizibwa bwaabwe nga bakolera wamu ne Bakyala ba Bassekabaka Mwanga II, Chwa II ne Muteesa II.
Ab'ekkobe baleese Justine Namale, Kabejja wa Muteesa I.
Ab'embogo baleese Omuweka Tawutta Omulungo wa Ssekabaka Muteesa II. Aleteddwa Dorah Nampiira.

omukolo gw'okusala ekisasi ky'enju Muzibu-Azaala- Mpanga.
Ab'empeewo banjudde Kaggo w'e Kasubi, Joseph Kaddu. Ava mu Ssiga lya Lubuulwa e Kibone-Kkungu.
Kaggo w'amasiro mukulu nnyo kuba yaddirira Nnaalinya w'amasiro olwo Katikkiro.
Ab'emmamba baleese Kaddulubaale wa Muteesa I. Emikolo gyonna egy'ennono gisuubirwa okumalirizibwa olunaku lw'enkya ku Lwokutaano August 21,2026.