KATIKKIRO wa Buganda Charles Peter Mayiga akubirizza abavubuka okwetanira okuyiga n’okukozesa omutimbagano batambule n’omulembe oguliwo.
Mayiga agamba nti enkyukakyuka kati eriwo mu nsi yakukozesa mutimbigano okutumbula bizinensi, emirimu, obumanyi, ate n’okukola ssente nga lino ekkubo buli muntu lyakutte.

Katikkiro Charles Peter Mayiga
“Abavubuka mbakubiriza okwetanira emitimbagano kubanga enkyukakyuka bwezijja gwe n’ozesulubabba zo zijja kukukyusa mu ngeri gyotayagala. Mwe kyemulina okukola kwe kukozesa bulungi enkyukakyuka zino,” Mayiga bwasabye abavubuka.

Katikkiro asisinkanye abawerekeddeko Mzeei Magala

Katikkiro nga alamusa Munnamutimbagano Magala Musajjalumbwa
“Tekinologiya alinga mmotoka bw'ogikozesa obubi ekutta,” Mayiga bwalabudde abavubuka ku nkozesa embi eya tekinologiya n’emitimbagano egiriwo kati.
Katikkiro Mayiga alabudde Mzeei Magala ku nnyama gy'alya eyitiridde
“Wegendereze ennyama gy'olya. Enyama ewooma nnyo naye lya ntonotono obeere mulamu osobole okuwereeza Kabaka. Ennyama girye naye kendeeza, lya nsaamusaamu,” Mayiga bwagambye.

Mzeei Magala ne Katikkiro
Amusabye okukola ku dduyiro okusobola okukendeeza omubiri, okwongera okutambulira mu bumanyi, okwetanira okusoma ate n’okunyweza emirimu egyo gyatandiseewo.
Minisita w’amawulire n’okukunga abantu mu Buganda, Israel Kazibwe ayogedde ku Magala ng’omuntu awa eky’okulabirako buli muntu mu Buganda bwalina okweyisa ng’asinzira waali neebyo byakola okulwanirira Obwakabaka nga Magala bwakola ng’ayita ku mikutu gye egy’omutimbagano.

Katikkiro Mayiga ng'ali mu kifananyi ne Muzeeyi Magala ne Mukyala we
Mu kwogerako kwe, Magala abuulidde Katikkiro nga bweyawebwa omulimu n’obuvunanyizibwa bw’okulwanirira Obwakabaka bwa Buganda ng’ayita ku mikutu gye egy’omutimbagano ate n’okusomesa ebyafaayo bya Buganda eri abantu.
“Nkwebaza Katikkiro okubeera omukulembeze asembeza buli muntu okuli nange omuntu wawansi gwokyazizza leero,” Magala bwayogedde.

Baaweerekeddeko Mzeeyi Magala
Magala azze n’Omubaka wa Katikamu North Denis Ssekabira, abayimbi okuli Messach Ssemakula, Ronald Mayinja, Princess Amirah, Mukyala we n’abaana be, Diana Nabatanzi n’abalala bangi.