Amawulire

Heal the Planet Global banjudde enteekateeka y'okuyambako abasula mu mugotteko gw'e Katangaa

ABASUMBA b'Abalokole mu kkanisa eziri mu Kampala ne Wakiso nga beegattira mu kibiina kya Heal the Planet Global batandiisewo enteekateeka y'okuyambako abantu abawangaalira mu mugotteko gw'e Katanga mu munisipaali y'e Kawempe abeetaaga eby'okulya n'obujjanjabi.

Heal the Planet Global banjudde enteekateeka y'okuyambako abasula mu mugotteko gw'e Katangaa
By: Bukedde Omusunsuzi, Journalist @NewVision

ABASUMBA b'Abalokole mu kkanisa eziri mu Kampala ne Wakiso nga beegattira mu kibiina kya Heal the Planet Global batandiisewo enteekateeka yokuyambako abantu abawangaalira mu mugotteko gw'e Katanga mu munisipaali y'e Kawempe abeetaaga eby'okulya n'obujjanjabi.

Bano baasinzidde mu lukung'aana lwa bannamawulire e Nsambya ne bagamba nti baakusoosootola emteekateeka eno wiiki ejja ku Lwokusatu  nga bagabira abantu abawangaalira mu kitundu kino eby'okulya, engoye wamu n'obujjanjabi obwendwadde  ezenjawulo. 

Nga bakulembeddwamu Earnest Benjamin Kivumbi akulira Heal the Planet Global agamba kino bakikoze olwebwetaavu abantu bano ababeera mu mugotteko bwe balina naddala ku byokulya nobujjanjabi era kwekuvaayo nenteekateeka eno.

Kino kyakukolebwa oluvanyuma lwokuyambibwako  Omusumba okuva mu ggwanga lya America Mitchell Coralle agenda okujja mu ggwanga ku Mmande nga 24 wiiki ejja  era nga waakukyalirako abantu abawangaalira mu kitundu kino  n'okwongera okubayambako mu byetaago byabwe.

Omusumba Patience Ssempala yagambye nti okusinziira ku mbeera yabantu abawangalira mu bitundu byenzigotta enteekateeka eno nnungi okusobola okukwasizaako abantu abali mu bwetaavu nokwongera okusabira eggwanga awamu ngabasumba bonna abanabeerawo okutandiika wiiki ejja.

Tags: