Amawulire

Omusajja atemye mukazi wa Mutoowe ejjambiya n'atemako ne bbebi ekkigere

Omusajja avudde mu mbeera n'abaka ejjambiya n'atema mulamu we face n'omugongo n'atwaliramu n'omwana ow'omwaka ogumu n'amukutulako ekigere. 

Maama n'omwana mu ddwaliro
By: Godfrey Kigobero, Journalist @New Vision

Omusajja avudde mu mbeera n'abaka ejjambiya n'atema mulamu we face n'omugongo n'atwaliramu n'omwana ow'omwaka ogumu n'amukutulako ekigere. 

Bibadde Vide Kinoni B mu muluka gw'e Lubale mu Ggombolola y'e Kyera e Sembabule, Yoweri Muhwezi 30 gy'agambibwa okutema mukyala wa mutoowe Faith Kamusiime 20 n'amulumya wamu n'omwana we ow'omwaka ogumu. 

Ekigere kya Bbebi ekitemeddwako

Ekigere kya Bbebi ekitemeddwako

Olumaze okukola ekikolwa kino nti n'adduka kyokka poliisi n'abatuuze bamuyizze ne bamukwatira ku kyalo Rwemikoma mu disitulikiti y'e Kazo n'akomezebwawo e Sembabule ng'okubuuliriza kugenda mu maaso. 

Omwogezi wa poliisi e Masaka, Twaha Kasirye, agamba nti entabwe evudde ku  mukyala wa Muhwezi obutamukkiriza kufumba mu maka gye babazaala nti kyokka omukisa lubeerera ne baguwa Kamusiime ( mukyala wa mutoowe) 

Agasseeko nti mu kiseera ekyo gwe batemye , abadde afumba nkoko .Abooluganda bombi, buli omu alina amaka okumpi ne webabazaala.

Tags:
Kyera e Sembabule
Twaha Kasirye
Yoweri Muhwezi
Masaka

Emboozi Ezifanagana