Amawulire

Palamenti etandise okukubagana empawa ku nkola ya Balaam ey'emirimu

PALAMENTI etandise okukubagana empawa ku ngeri minisita wa gavumenti ez’ebitundu Balaam Barugahara ne munne Justine Nameere gye bakolamu emirimu okumalawo omuzze gw’okulya enguzi n’okukozesa obubi ensimbi y’omuwi w’omusolo mu ggwanga.

Palamenti etandise okukubagana empawa ku nkola ya Balaam ey'emirimu
By: Teopista Nakamya, Journalist @New Vision

PALAMENTI etandise okukubagana empawa ku ngeri minisita wa gavumenti ez’ebitundu Balaam Barugahara ne munne Justine Nameere gye bakolamu emirimu okumalawo omuzze gw’okulya enguzi n’okukozesa obubi ensimbi y’omuwi w’omusolo mu ggwanga.

 

Omubaka Patrick Wakida ( Kabweri) mu lutuula lwa palamenti ku Lwokubiri olwakubiriziddwa omumyuka wa sipiika Thomas Tayebwa yavumiridde engeri Balaam ne Nameere gye bakolamu omulimu gw’okukwata abakozesa obubi ensimbi y’omuwi w’omusolo.

 

Yaloopedde palamenti nti engeri gye bakwatamu abantu abo mu maaso g’abo be baweereza  ebatyoboola si na kyokka wabula ne ssemateeka.

 

Yawadde eky’okulabirako eky’engeri akulira eddwaliro lya Budaka Health Centre IV, Dr. Winfred Mutaki n’akulira ebyobulamu ku disitulikiti  Dr. Elisa Mulwani gye baakwatibwamu  wiiki ewedde ku bigambibwa nti baalemererwa okutuusa empeereza ku bantu n’okukozesa obubi offiisi.

 

Wakida  agamba tawakanya kye bakola naye engeri gye bakwatamu abakungu si ya buvunaanyizibwa nga esaana etunulwemu  nti kubanga Mutaki ne Mulwani baasigala baswadde.

 

Balaam ku nsonga eno yakakasizza palamenti nga bw’ataamanya byagenda mu maaso Budaka kubanga teyaliiyo wabula n’ategeeza nti bwe kiba kituufu nti abasawo abo engeri gye baakwatibwamu yali ebatyoboola  kyali kibi.

 

Yeetondedde abantu b’e Budaka era n’awunzika ng’alagidde omumyuka we Nameere naye okubeetondera mu butongole nti kubanga bakigwana.

 

Omubaka Swaibu Abdul Kampanya akiikirira abantu ba  iki-iki, emu ku konsitituwensi ezisangibwa mu disitulikiti y’e Budaka mu lutuula lwa palamenti ku Lwokusatu olwakubiriziddwa sipiika Jacob Oboth yawakanyizza ebigambo bya Wakida n’ategeeza nti abasawo tebaakwatibwa bubi .

 

Ku kyakolebwa abantu b’e Budaka yagambye basanyufu era basaba ne mu bitundu ebirala bakole kye kimu.

 

Ku nsonga eno, sipiika Oboth yalabudde abakungu abalina ennugu ku ngeri Balaam gy’akolamu emirimu okukikomya wabula babeere emabega we okumalawo enguzi mu ggwanga.

 

 

“Ekirina okuteekebwako essira kwe kulaba ng’enkola gye baatongozza okukwata n’okulabisa abali b’enguzi egoberera amateeka.”

 

Naye eky’okukungirizza nti bayitiridde okulabisa bannaabwe n’okukuba ennyo ng’enjogera y’ennaku zino bweri babeera babalemesa kukola omulimu, yasabye ababaka n’abakungu abalala obutabayingirira nga bakola omulimu.

 

Ku ngeri gye bakolamu emirimu, Oboth yagambye nti  baakwanjulira palamenti lipooti wiiki ejja ku Lwokubiri okumanya we batuuse.

Tags:
Amawulire
Palamenti
Justine Nameere
Balaama Barugahara