BANNA NRM ku kyalo Lubatu Kizingiza Kabaganda mu muluka gw’e Kiteezi Kasangati Town Council basabye minisita wa gavumenti z'ebitundu Balaam Barugahara alagire wabeewo okulonda mu kitundu kyabwe nti kuba mu biseera ebyokulonda bbo tebaalonda.

Abatuuze abatali bamativu nga bali mu lukiiko
Baagambye nti zaagenda okuwera ssaawa 1:00 ey’okumakya abatuuze nga beeteekateeka okugenda okulonda, bawulira ku bizindaalo nti okulonda kuwedde era Mukasa akalulu akawangudde.
Ku lunaku lw’okulonda ba sentebe b'ebyalo akalulu k’e Lubatu ke kamu kw’obwo obwalimu omuvuyo era olunaku lwagenda okuggwa ng'abantu babiri beerangiridde ku bwassentebe nga ku bano kwaliko Joash Mulindwa ssentebe eyaliko ne Daudi Mukasa agambibwa okuba ku kkaadi ya NRM.
Aaron Kirwana yategeezezza nti NRM yali ewadde ye kkaadi okwesimbawo kyokka Daudi Mukasa n’agimubbako.
Ate Lawrence Sserunjogi ssentebe wa NRM mu kyalo Lubatu alumirizza nti bendera y'ekibiina okubbibwa ku Kirwana n’eweebwa Mukasa ku ssaawa esembayo waaliwo ekkobaane mu banene b'ekibiina e Kasangati nga mwalimu n'okugulirira era yafutyankibwa abanene mu kibiina era ayagala wabeewo okunoonyereza ku nsonga eno.