Amawulire

Nabbanja alabudde ku kuzza kasasiro e Kiteezi

KATIKKIRO wa Uganda, Robinah Nabbanja agambye nti wadde ng’ekifo ky’e Kiteezi kirongooseddwa nnyo okuva lwe kyatta abantu, kikyali kyabulabe nnyo ssinga kig gulwawo ne baddamu okuyiwayo kasasiro n’okussaawo ekkolero lya kasasiro erimufuula ow’omugaso.

Okuva ku kkono; Hajjat Sharifah Buzeki akulira KCCA, minisita omubeezi owa Kampala Kabuye Kyofatogabye ne mukama we Hajjati Minsa Kabanda, Ambasada wa Japan mu Uganda, Sasayama Takuya n’abalala
By: Bukedde Omusunsuzi, Journalist @NewVision

KATIKKIRO wa Uganda, Robinah Nabbanja agambye nti wadde ng’ekifo ky’e Kiteezi kirongooseddwa nnyo okuva lwe kyatta abantu, kikyali kyabulabe nnyo ssinga kig gulwawo ne baddamu okuyiwayo kasasiro n’okussaawo ekkolero lya kasasiro erimufuula ow’omugaso.

Yabyogedde alambuzibwa ekifo kino ekiri mu kutereezebwa ekitongole kya ‘UN Habitat’ nga kiri wamu n’ekitebe kya Japan mu Uganda ssaako ekitongole kya KCCA.

Ab’ekitongole kya ‘UN Habitant’ bamaze ebbanga nga bakiddaabiriza nga bakozesa enkola “Fukuoka method’, enkola ya bayinginiya b’e Japan ekozesebwa okutereeza ebifo ebikadde omwali muyiibwa kasasiro, okuziyiza embeera eya kasasiro okuddamu okubumbulukuka.

Ab’ekitongole kya ‘UN habitant’ nga bali wamu n’ekitebe kya Japan mu Uganda bwe baabadde baddamu okukwasa KCCA ekifo kino mu butongole nga August 5, 2026 e Kiteezi ku mukolo, Nabbanja kwe ybadde omugenyi omukulu, yagambye nti, omukolo guno kabonero akaalaze ekirina okukolebwawo n’okutuukibwako nga tukoleganira wamu n’ebitongole by’abakugu.

“Nga tukwasa KCCA ekifo kino ekya Kiteezi, tulina okusigala nga tukuuma obutonde. Era Sisuubira kusanga muntu yenna ng’aleese kasasiro n’amuyiwa mu kifo kino.

Okuddamu okuyiwa kasasiro e Kiteezi tujja kusooka kuwabulwa bakugu” Nabbanja bwe yategeezezza.

Yagambye nti nga bwe kirambikiddwa mu biruubirirwa bya Uganda okutuukibwako mu 2040, nga bayita mu kitongole kya ‘National Development Plan IV, Gavumenti yaffe ekyali nnywevu okulaba ng’ekulaakulanya ebibuga.

“Bwe twali mu kabinenti ku Mmande ya wiiki eno, ffenna twali twogera ku Kampala n’engeri gye tugenda okuweereza Bannakampala n’okulaba bwe tumalawo omugotteko mu bitundu by’ebibuga kubanga tetukyayagala gulabako” Nabbanja bwe yategeezezza.

Yayongeddeko nti Pulezidenti yamuwadde omulimu gw’okulaba Gavumenti ky’ekola okukkaanyisa bannannyini ttaka omuli omugotteko kubanga kya Uganda kati, bwe bwannannyini bw’ettaka.

Minisita wa Kampala Hajati Minsa Kabanda yagambye nti aba ‘UN habitant’ bakyagenda mu maaso n’okuddaabiriza yiika 20 ezibulaayo okugatta ku 16 ze baddaabirizza.

Entuumu ya kasasiro w’e Kiteezi yabumbulukuka n’abikka ennyumba z’abantu nga August 1, 2024 era abantu 35 baafa ate 280 baasigala nga tebalina we basula.

Tags:
KCCA
Robinah Nabbanja
UN Habitat
Kiteezi