Amawulire

Gavumenti esuubizza okugula ebimotoka ebiyoola kasasiro akung'aanyizibwa mu bulungibwansi

GAVUMENTI egumizza Bannayuganda ku kasasiro eyakung’aanyizibwa omwezi oguwedde ku lunaku olwatongozebwa olwa bulungi bwa nsi n’asigala ng’abemberedde ku nguudo nti ekitongole kya KCCA kitandise okumuyoola.

Gavumenti esuubizza okugula ebimotoka ebiyoola kasasiro akung'aanyizibwa mu bulungibwansi
By: Teopista Nakamya, Journalist @New Vision

GAVUMENTI egumizza Bannayuganda ku kasasiro eyakung’aanyizibwa omwezi oguwedde ku lunaku olwatongozebwa olwa bulungi bwa nsi n’asigala ng’abemberedde ku nguudo nti ekitongole kya KCCA kitandise okumuyoola.

Omu ku kasasiro ayogerwako eyabembeka mu makubo

Omu ku kasasiro ayogerwako eyabembeka mu makubo

Nampala wa Gavumenti, Jane Ruth Aceng asinzidde ku palamenti leero mu lutuula olukubiriziddwa omumyuka wa sipiika, Thomas Tayebwa n’ategeeza nti gavumenti eri mu nteekateeka egula emmotoka eziwerako ezikung’aanya kasasiro ezinaakozesebwanga mu bulungibwansi.

Kye baalaba ku lunaku lwe baatongoza ku lunaku lwa bulungi bwansi omwezi oguwedde yagambye kyabasukkako olwa kasasiro omuyitirivu abantu gwe baakung’aanya.

Ekigendererwa ky’okutongoza enkola ya bulungi bwansi, yagambye kwali kwongera mutindo ku buyonjo era nga ensonga ya kasasiro eyasigala ku nguudo ebabobbya omutwe KCCA etandise okujikolako.

Omubaka Shamim Malende Nga Yeemulugunya Ku Kasasiro.

Omubaka Shamim Malende Nga Yeemulugunya Ku Kasasiro.

Asuubizza Bannayuganda nti mu bulungi bwansi addako ng’omwezi guno guggwaako tebagenda kuddamu kulaba kasasiro akung’aanyiziddwa n’atayoolebwa.

Okusuubiza kino,  kiddiridde omubaka Shamim Malende ( mubaka omukazi Kampala) okwemulugunya ku kasasiro ataayoolebwa naddala mu diviizoni y’e Makindye Central, Nakawa, Kawempe ne Rubaga.

Buli kasasiro ono lw’akungaanyizibwa n’atayoolebwa yagambye kiteeka obulamu bw’abantu mu matigga so nga era wa bulabe eri n’obutonde bw’ensi.

Tags:
Amawulire
Gavumenti
Kasasiro