SSAABASUMBA w’Essaza ekkulu erya Kampala Paul Ssemogerere asabye bannayuganda okwewala emize egiyinza okubaviirako okukwatiibwa n’okusasaanya obulwadde bwa sirimu.

Ssaabasumba oluvannyuma lw'olukung'aana lwa bannamawulire.
Ssaabasumba Ssemogerere agambye eklezia ebadde nsala nnyo mukulwanyisa obulwadde buno ng’eyita mukuwa abalwadde obujjanjabi n’okubabuddibwa kyokka waliwo abamu abagufula omulimu okusasaanya obulwadde buno.
Agambye nti kyewunyisa okulaba ng’abavubuka bangi benyigira mu bikolwa by’omukwano nga sibafumbo nga beesiga obupiira (Condom) ate abamu okwegatta bakufula ekinyuma nabatuuka n’okwewala amakkubo ag’okwetangira ekivuddeko obulwadde okweyongera.
Ssaabasumba okuvaayo ku nsonga eno kidiridde alipoota eyafulumiziddwa abakugu ng’eraga nti abantu 200, beebakwatibwa akawuka ka sirimu mu Kampala buli wiiki.
Mungeri y’emu Ssaabumba yakunze bannayuganda bonna okwenyigira mulutalo olw’okulwanyisa obukyafu nagamba nti ekya gavumenti okuteekawo olunaku lwa bulungi bwansi ow’abuli mwezi kitono nnyo kubirina okukolebwa okukuuma obuyinjo.
Agambye nti mu Uganda mwosanga abantu abavuga emmotoka ez’ebbeeyi abatambula nga bamansa kasasiro kunguudo nasaba abazadde okutwala obuvunaanyizibwa okugunjula n’okuyigiriza abantu obukulu bwokweyonja n’okuuma obuyonjo.
Ebikujjuko by’omwaka guno byakutongorezebwa ku kigo kye Gayaza nga September 1, ngesiira lyatekebwa ku buttoned bwrns, ensonga z’amateeka n’obulamu nga byakutambulira ku mulamwa ogugamba nti ‘’ Emirembe gibe nammwe ‘’ Nga tuleeta emirembe awatali kuyita mu ntalo era tukozese emirembve okumalawo entalo’’
Ebirala ebigenda okukolebwa omwezi guno kuliko omusomo ku eyali Ssaabalamuzi Benedictor Kiwanuka ogukwata ku bwenkanya n’eddembe ly’obuntu, Missa n’okusaba ebikolwa eby’okukusa abantu okumezebnwa, emisinde emikolo girifundikirwa ku kigo kye Kyengera nga September 30, n’okwefumitirizza ku banoonyi b’obuddamu nababundabuda.
Ssaabasumba asinzidde wano nasaaba abantu bulijjo okufuba okulaba nga bamalawo obutakkanya mu mirembe nga bayita mu kuteesa mukifo ky’okulwanagaana, era akubirizza abantu ssekinoomu n’ebitongole okukolera emirembe nga batandikira mu maka gaabwe n’okwewala ebikolwa eby’obutabanguka mu maka ebiviiriddeko nabamu okufiirwa obulamu.
Ye akulira ekitongole ky’obwenkanya n’eddembe mu ssaza ekkulu erya Kampala Fr. Emmanuel Siita akatirizza obukulu bw’omwezi guno eri eggwanga nasaba abantu bonna okwenyigira munteekateeka zino.
Agambye nti bataddewo ne Novena ey’okusabira emirembe okumala ennaku mwenda ng’eno yakutandika nga September 1 okutuuka nga September 9.