ABANTU babiri abagambibwa okwenyigira mu bubbi bwa pikipiki, bakwatiddwa poliisi e Iganga.
Kigambibwa nti baabakutte ne pikipiki ezigambibwa okuba enzibe okuli nnamba UDL 920 P , UEC 298T, UDH 668H n'endala okutali nnamba ne sipeeya wa pikipiki awerako nga kuliko ne nnamba plate ya pikipiki nnamba UDR 173Z ne kkaada za pikipiki 4.
Kitegeezeddwa nti abaakwate, baludde nga beenyigira mu kusuubula pikipiki okuva mu mwaka gwa 2024 okuva mu bitundu by'e Tororo.
Emu ku pikipiki ze babasanze nazo nnamba UDL 920P, nti bano baali baagiguza Isa Mulindwa nti kyokka n'ebibbwa era omusango ne baguloopa ku poliisi e Nakalama.
Omwogezi wa poliisi mu Busoga East, Micheal Kasadha, agambye nti okubuuliriza n'okuzuula bannannyini pikipiki abatuufu n'okumanya sipeeya gye yaggyibwa, kugenda mu maaso.