Amawulire

Poliisi ekutte babiri mu bubbi bwa ppikipiki e Iganga

ABANTU babiri abagambibwa okwenyigira mu bubbi bwa pikipiki, bakwatiddwa poliisi e Iganga.

Poliisi ekutte babiri mu bubbi bwa ppikipiki e Iganga
By: Godfrey Kigobero, Journalist @New Vision

ABANTU babiri abagambibwa okwenyigira mu bubbi bwa pikipiki, bakwatiddwa poliisi e Iganga.

 

Abakwatiddwa, kuliko Arafaati Musenze 32 omutuuze w'e Lwerera mu ggombolola y'e Nawanyigi ne Joshua Kuzegera 57 nga mutuuze w'e Bukoyo mu ggombolola y'e Bulamagi e Iganga.

 

Kigambibwa nti baabakutte ne pikipiki ezigambibwa okuba enzibe okuli nnamba UDL 920 P , UEC 298T, UDH 668H n'endala okutali nnamba ne sipeeya wa pikipiki awerako nga kuliko ne nnamba plate ya pikipiki nnamba UDR 173Z  ne kkaada za pikipiki 4.

 

Kitegeezeddwa nti abaakwate, baludde nga beenyigira mu kusuubula pikipiki okuva mu mwaka gwa 2024 okuva mu bitundu by'e Tororo.

 

Emu ku pikipiki ze babasanze nazo nnamba UDL 920P, nti bano baali baagiguza Isa Mulindwa nti kyokka n'ebibbwa era omusango ne baguloopa ku poliisi e Nakalama.

 

Omwogezi wa poliisi mu Busoga East, Micheal Kasadha, agambye nti okubuuliriza n'okuzuula bannannyini pikipiki abatuufu n'okumanya sipeeya gye yaggyibwa, kugenda mu maaso.

Tags:
Iganga
Kumenya
Mateeka
Poliisi