KABADDE kaseera kazibu eri abakulembeze ba LC1 mu diviizoni y’e Gombe mu munisipaali y’e Nansana bwe babadde bakuba ebirayiro byabwe eby’okuddamu okukulembera ebyalo byabwe nga bano wakati mu kulayira oluzungu lutagazza abakulembeze bano abamu ne batuuka n’okulayira mu lulimi oluganda.

Omu ku bassentebe ng'alayira.
Wadde nga bano olungereza lubasumbuye, bamaze okukwasibwa sitampu okusobola okukulembera ebyalo byabwe.
Oluvannyuma ly’okulayira mmeeya wa diviizoni y’e Gombe Hawa Mbabazi akuutidde abakulembeze bano okwewala okutunda ettaka emirundi ebiri kuba ye mu bukulembeze bwe tagenda kukikkiriza era abakulembeze abanaakikola waakubagombamu obwaala.

Ssentebe omulala ng'alayira.
Kyokka yeekkokkode poliisi essuse okuyawula mu booluganda ng’omuntu bw’agendayo n’ateekayo omusango mu kifo ky’okubatuuza waakiri basobole okugonjoola ensonga ate baagala bo kusiba busibi ng’emirundi egisinga ensonga ebeera tennaba kugaziwa naye poliisi n’egigaziya.
Bo abakulembeze abaakubye ebirayiro byabwe basuubizza abatuuze okubakolera wakati mu bwensimbu nga kw’otadde n’okubakulembera obulungi.