Amawulire

Ogw'abagambibwa okusaddaaka abaana e ssembabule kkooti egwongezzaayo okutuuka olunaku lw'enkya

Kkooti enkulu e Masaka nga ekubirizibwa omulamuzi Victoria Nakintu ekomekkerezza okuwulira okuwoza kw'abantu abaakwatibwa ku by'okusadaaka abaana 2 mu disitulikiti ye Ssembabule

Hasfa Nakuya eyewozezaako leero ku misango gyokusadaaka abaana e Ssembabule
By: Phiona Nanyomo, Journalists @New Vision

Kkooti enkulu e Masaka nga ekubirizibwa omulamuzi Victoria Nakintu ekomekkerezza okuwulira okuwoza kw'abantu abaakwatibwa ku by'okusadaaka abaana 2 mu disitulikiti ye Ssembabule.

Abavunaanwa kuliko Omusamize Hassan Nalukoola,Hasfa Nakuya nga Ono mukyala wa Nalukoola,Ahmada Musanje, Zubair Matovu ne Elly Tumwebaze nga bano batuuze ku kyalo Kasaana mugombolola ye Mateete mu disitulikiti ye Ssembabule.

Bano bakwatibwa ku bigambibwa nti balina ekkobane mu kuwamba n'okutta abaana okuli Andrew Jjunju ow'emyaka 6 nga Ono yali Muyizi ku somero lya st.Herman Kasaana p/s ne Julius Asiimwe ow'emyaka 2.

Hassan Nalukoola ayambadde jjampa eya kyenvu, Zubair Matovu,Elly Tumwebaze ne Ahmada Musanje mu kaddukulu ka kkooti

Hassan Nalukoola ayambadde jjampa eya kyenvu, Zubair Matovu,Elly Tumwebaze ne Ahmada Musanje mu kaddukulu ka kkooti

Emirambo gy'abagenzi gyasangibwa mu kinnya kya kaabuyonjoye enkadde eyali tekyakozesebwa nga gyasalibwako ebitundu ebimu era abobuyinza ne basitukiramu ne bagomba obwaala mu bantu bano.

Bano bavunanibwa emisango 6 okuli ogw'okuwamba abaana,okutta,okwekobana okutta,okwagala okutta n'okuwandiika bikiro kitwala omunnaku ebitiisatiisa okutta.

Olunnaku olwa leero kkooti ekomekereza okwewozaako kw'abantu bano nga leero Hasfa Nakuya yewozezako mu kkooti nga agamba nti ye ne bba Nalukoola babalanga bwemage nti kuba omuntu eyabawako obujjulizi bamukwata enfunda eziwera nga ababbira ebintu awaka ne ku kyalo.

Omulamuzi omusango agwongezaayo okutuusa olunnaku olw'enkya.