Amawulire

omusomesa alumbye mukyala we ku buko n'amufumitirayo ebiso ebimusse n'ennyumba n'agiteekera omuliro!

Wabaddewo ekikangabwa, omusomesa bw'alumbye mukyala we ku buko n'amufumitirayo ebiso ebimusse n'e nnyumba n'agiteekera omuliro.

omusomesa alumbye mukyala we ku buko n'amufumitirayo ebiso ebimusse n'ennyumba n'agiteekera omuliro!
By: Godfrey Kigobero, Journalists @New Vision

Wabaddewo ekikangabwa, omusomesa bw'alumbye mukyala we ku buko n'amufumitirayo ebiso ebimusse n'e nnyumba n'agiteekera omuliro.

Abatuuze bamutaayizza ng'agezaako okudduka, naye ne bamukuba bubi nnyo n'aweebwa ekitanda mu ddwaaliro e Iganga, gye bamujjanjabira ku mpingu.

Ettemu, libadde ku kyalo Nampirika B mu ggombolola y'e Nakalama mu disitulikiti y'e Bugiri ku ssaawa nga nnya ez’okumakya eggulo.

Denis Kamya 27 nga musomesa era nga mutuuze w'e Nankoma mu Bugiri, y'agambibwa okutta mukyala we Jackline Namusobya 24 gw'asanze ewaabwe gy'agambibwa okumufumitira ebiso.

Omwogezi wa poliisi mu Busoga East, Micheal Kasadha, agambye nti wakati mu mboozi okugwa amakerenda ne nyazaala we, nti Kamya alumbye mukyala we mu ffumbiro ng'afumba ccaayi, n'amufumita ebiso mu luba ne mu bulago n'agwa wansi nti mwannyina Paul Musobya agezezzaako okutaasa nga buteerere, nti Kamya era kwe kuteekera omuliro ennyumba ya nnyazaala.

Agasseeko nti naye bamukutte ne bamukuba bubi nnyo n'atwalibwa mu ddwaaliro e Iganga ng'apooca.