Amawulire

Minisita JC Muyingo akooneddemu enkyuka mu byenjogoriza

Minisita JC Muyingo akooneddemu enkyuka mu byenjogoriza

Miniista JC Muyingo n'abakungu abalala
By: David Lukiiza, Journalists @New Vision

UGANDA ekendeezeza okwesigama ku bagwira  mu kuddukanya ebitongoe eby'enkizo. Okusinziira ku minista buli government bweteeka ssente mu kusomesa abaana b'eggwanga kino kinweza ebyenfuna byaffe nge’gwanga era ne kisobozesa bannayuganda okwenyigira mu milimo egyo egyakolebwa nga abagwira.

MNinisita JC Muyingo ng'ali n'abakungu abalala

MNinisita JC Muyingo ng'ali n'abakungu abalala


 “Gyebuvuddeko twali twesigamwenyo kubagwiira mu kukola emirimu gy'eggwanga gamba nga ekitongole ekikunganya omusolo.

Naye leero olw'ensonga nti twongedde amaanyi mu kusiga mu bwengigiriza, bannayuganda bangi kati bebaddukanya ebitongole bino,” 
Bino minista Muyingo yabyogeredde mukugulawo olukiikolwe olwekanya  byenzigiliza olwabuli mwaka ku Serena hotel Kigo nga March 30, 2026.