AGAMBIBWA okukulira akabinja ka ADF Jamir Arirabaki Kyagulanyi amanyiddwa nga Jamir Mukulu alemedde mu kaduukulu ka kkooti, n’agamba nti akooye okuwalampa amadaala.
Kkooti bwe yakomyewo looya we Patrick Kasumba n’ategeeza nti Mukulu agaanye okudda olwo Ofiisa w’amakomera ASP Derrick Ainebyona yabuulidde kkooti nti omusibe yabagambye tayinza kulinnya madaala mirundi ebiri olunaku noolwekyo anadda olulala.
Munnamateeka we Patrick Kasumba aleetedde kkooti ebbaluwa y’obulwadde okuva mu ddwaliro ly’amakomera e Luzira eyassibwako omukono mu November 2024 ng’egamba nti omusibe oyo mulwadde wa sukaali ne puleesa noolwekyo afuna obuvune obw’enjawulo mu magulu, mu nnyingo, mu mugongo ne bw’aba atambula.
Kyokka omulamuzi alagidde nti Mukulu bw’aba tasobola kuguma omusango gutandike okuwulirwa kkooti esobola okugenda mu maaso wadde nga taliiwo.
Ayongeddeko nti ono alina okulondako ku ky’ayagala omusango guwulirwe. Kkooti eragidde bafune engeri gye bajja okumutambuzaamu mu lutuula oluddako enkya.