Amawulire

Omulabirizi we Mukono asomoozezza abantu ku mpisa n'obuntu bulamu

Omulabirizi w’e Mukono avumiridde eky’obuntu bulamu obuwedde mu bantu ensangi zino ezibaviiriddeko okwenyigira mu bikolwa eby’esittaza.

Omulabirizi we Mukono Enos Kagodo ng'ali ne Vicar wa Lutikko e Mukono Canon Rev.Godfrey Ssengendo mu kutambuza ekkubo ly'omusaalaba
By: Joan Nakate, Journalists @New Vision

OMULABIRIZI w’e Mukono avumiridde eky’obuntu bulamu obuwedde mu bantu ensangi zino ezibaviiriddeko okwenyigira mu bikolwa eby’esittaza.

Omulabirizi we Mukono Enos Kagodo ng'ali ne Vicar wa Lutikko e Mukono Canon Rev.Godfrey Ssengendo mu kutambuza ekkubo ly'omusaalaba

Omulabirizi we Mukono Enos Kagodo ng'ali ne Vicar wa Lutikko e Mukono Canon Rev.Godfrey Ssengendo mu kutambuza ekkubo ly'omusaalaba

Ono asinzidde ku lutikko y’e Mukono bw’abadde akulembeddemu abakristu okutambuza ekkubo ly’omusaalaba n’awa eky’okulabirako eky’omusajja eyavudde mu mbeera n’asanjaga amabuje agatalina musango n’ategeeza nga bino byonna bwe bivudde ku bantu okubulwa embala y’obwa katonda.

Ayongeddeko nga bino byonna bwe biva ku nkuza y’abaana embi olw’abazadde abeesuuliddeyo ogwa nnagamba okukuliza abaana baabwe mu ddiini ekibaviiriddeko okwenyigira mu bikolwa nga bino ebigendereddwaamu okusaanyaawo obulamu bw’abantu mu ngeri ey’ettemu.

Abayizi b'essomero lya Bishops e Mukono nga basitudde ekkubo ly'omusaalaba

Abayizi b'essomero lya Bishops e Mukono nga basitudde ekkubo ly'omusaalaba

Ono oluvanyuma akulembeddemu abakkiriza ne boolekera ku ssomero lya Bishops Senior School e Mukono n’akwaasa abayizi omusaalaba, abagutambuzza ne bagutuusa ku Pension House, nga wano we gwagyiddwa ne bagwoolekeza ku ddwaliro lya Namirembe Church of Uganda, ne bagwoolekeza ku ddwaliro lya Mukono general Hospital,n’oluvanyuma ne bafundiikirira ku komera lya Kauga ng’eno, abasibe badukiriddwa n’ebintu omwabadde engoye,sukaali, omuceere, n’ebintu ebirala bingi