Amawulire

Poliisi ekutte baddereeva 65 ku by'okuvuga nga batamidde

Ku bano, musanvu, baabadde baddereeva ba bbaasi ne ttakisi era nga bonna, baggyiddwako ebinkumu ne babaggalira n'oluvannyuma ne baggyibwako engassi.

Poliisi ekutte baddereeva 65 ku by'okuvuga nga batamidde
By: Godfrey Kigobero, Journalists @New Vision

Abantu 65 abagambibwa okuvuga ebidduka nga batamidde, be bakwatiddwa mu bikwekweto ebyakoleddwa mu nnaku enkulu.

Ku bano, musanvu, baabadde baddereeva ba bbaasi ne ttakisi era nga bonna, baggyiddwako ebinkumu ne babaggalira n'oluvannyuma ne baggyibwako engassi.

Mu bikwekweto ebirala ebyakoleddwa ku bagoba b'emmotoka ne pikipiki, baakutte 690 olw'okuvuga obubi.

Mu bano, mwabaddemu abataabadde na bikufiira ( elements) abavugisa ekimama, abavuga ziganyegenya, abayisa obubi, abavuga oludda olumu, abavuga endiima n'ebirala.

Omwogezi wa poliisi y'ebidduka Micheal Kananura, agambye nti ebikwekweto bikyagendera ddala mu maaso era n'abalabula, okweyisa obulungi ku nguudo.

Tags:
Bikwekweto
Poliisi
Kukwata
Ngassi
Kuggyibwako