Amawulire

Abagambibwa okunyaga nnamba puleeti Poliisi y'omu Nyendo emukutte

Poliisi ya Nyendo ekutte n'eggalira ssemaka abadde agufudde omugano okubba  nnamba puleeti z'emmotoka banyinizo n'abakanda omuddiddi gw'ensimbi okuzibaddizza.

Ab'ebyokwerinda nga baliiko byebabuuza Mutebi okubannyonyola
By: Phiona Nanyomo, Journalists @New Vision

Poliisi ya Nyendo ekutte n'eggalira ssemaka abadde agufudde omugano okubba  nnamba puleeti z'emmotoka banyinizo n'abakanda omuddiddi gw'ensimbi okuzibaddizza.

Andrew Mutebi myaka 24 nga Ono mutuuze ku kyalo Bujja  mu divizoni ya Nyendo Mukungwe mu kibuga masaka yakwatiddwa oluvanyuma lwa poliisi okusuula enkesi okuzuula omuntu abadde atigomya bannamasaka nga abba nnamba puleti zaabwe nga kino kiddiridde abantu abenjawulo ababbibwako nnamba puleti okuddukira ku poliisi ya Nyendo okwekubira enduulu okuyambibwa.

Namba Puleeti ezikwatiddwa

Namba Puleeti ezikwatiddwa

Kigambibwa nti Mutebi abadde abaza bannanyini mmotoka nga baliiko webazisimbye namamulako nnamba puleti zino olwo nabalekerawo akapapula okuli e nnamba ye ssimu ye era nga banyinizo bwebamukubira nga abasaba ensimbi watati wa kakadde n'emitwalo abiri okuzibaddizza

Ono yewaddeko obujjulizi nga omuze guno bwagukoledde emyaka esatu era naabulira poliisi obukoddyo bwakozesa okubba  okuzibba.

Omwogezi wa poliisi mu bbendobendo lye masaka Twaha Kasirye akakasizza okukwatibwa kwa Mutebi navumurira ebikolwa eby'abavubuka obutagala kukola nga balowooleza mu kufuna ebyamangu.