Amawulire

Ababba waya z’amasannyalaze ku bikondo basattiza ab’e Buikwe

ABANTU abatannategeerekeka bazinze ebyalo ebiwerako e Buikwe ne babba waya z’amasannyalaze ne bakuuliita ne mmita nga 1,000.

Kazibwe Wandeme ng’alaga waya ezaasaliddwa e Makonge.
By: Bukedde Omusunsuzi, Journalists @NewVision

ABANTU abatannategeerekeka bazinze ebyalo ebiwerako e Buikwe ne babba waya z’amasannyalaze ne bakuuliita ne mmita nga 1,000.
Abatuuze mu magombolola ag’enjawulo mu disitulikiti y’e Buikwe balaajanidde Gavumenti ebataase ku babbi bano abaagala okubaleka mu kibululu.
Baategeezezza nti, ababbi bano babalumba mu matumbi nga beebase nga ku makya baasanga emiti gy’amasannyalaze mikalu, nga tekuli waya n’emu!
Ebitundu ebisinze okukosebwa kuliko; Misindye, Kawolo, Kikakanya, Ssi, Ngogwe n’awalala. Bino we bijjidde, ng’abakulira ekitongole ekitambuza amasannyalaze ekya UETCL bakung’aanyizza bassentebe b’ebyalo mu munisipaali y’e Lugazi ne bababuulira akabi ke boolekedde ssinga tebavaayo ne balwanira wamu okukwata ababba waaya z’amasannyalaze.
Mu lukung’aana olwabadde ku ofiisi za munisipaali y’e Lugazi, abakulu baanokoddeyo ebyalo ebitakyalina masannyalaze, nga biwerako.
Baategeezezza nti, mu bitundu ebyo waaliyo amasannyalaze kyokka ababbi ne babba waaya. Beekubira enduulu, abaamasannyalaze ne baleeta waaya endala kyokka nazo zabbiddwa.
Abakulira Electricity Regulatory Authority (ERA) baasindise ekibinja ky’abanoonyereza ku bumenyi bw’amateeka mu kitongole ekyo ne batabaala ebyalo.
Baakulembeddwa SP Prossie Namukasa, eyaliko akulira bambega ba poliisi mu disitulikiti y’e Buikwe.
Basookedde Kkoba ku Kkoba RC P/S we baasanze nga waaya zaasaliddwa, omukulu w’essomero, Kanyike Godfrey n’abategeeza nti babbiddwaako mmita nga 100.
E Makonge, ssentebe w’ekyalo Kazibwe Wandeme yagambye nti, emiti gyonna kumpi gyasigadde mikalu ng’eno bateeberezebwa okubbayo mmita 1,000.
N’abe Nakatyaba ku luguudo oluva e Lugazi okudda e Ngogwe, ababbi baabalese beemagaza. Eno ebitundu bya waaya ababbi baalese birengejja ate nga kuliko amasannyalaze.
Omwogezi wa poliisi mu kitundu kya Ssezzibwa, Hellen Butoto yagambye nti, baakutte abantu bataano ne waya z’amasannyalaze eziteeberezebwa okuba enzibe nga baggyiddwa Lugazi ne batwalibwa e Kampala gye bagenda okuggyibwa batwalibwe mu kkooti.