Abantu 11 bafudde n'abalala abatannamanyika muwendo ne bafuna ebisago mu kabenje akabadde e Lwengo ku luguudo oluva e Masaka okudda e Mbarara.
Mu bamu ku bafiiridde mu kabenje kano, mwe muli n’omuserikale PC Arnest Abaho ng'abadde akolera ku poliisi e Mukono.

Bbaasi eyaweddewo bw'efaaanana.
Akabenje kabadde mu kkoona e Kalegero mu Lwengo, bbaasi nnamba UAL 492H egambibwa okuba eya kkampuni ya Kasamba, bw'etomereganye ne Loole Ttata nnamba UBH 013 Q ku ssaawa 7:00 n'ekitundu ez'ekiro ekikeesezza leero.
Omwogezi wa poliisi y'ebidduka Micheal Kananura, agambye nti abalumiziddwa, batwaliddwa mu ddwaaliro e Lyantonde.
Agasseeko nti Munaana, bafiiriddewo ate abalala basatu ne bafiira mu ddwaaliro. Agamba nti ekivuddeko akabenje kano, tekinnamanyika.
Mu ngeri y'emu era abantu abatannamanyika, bafiiridde mu Kabenje akagudde e Lukole ku luguudo oluva e Buwama okugenda ku Bunjako biici e Mpigi, Sinotruck bw'egudde mu kitoogo ku ssaawa nga 4:00 ez'ekiro ekikeesezza leero.
Kananura, agambye nti bakola kyonna ekisoboka okunnyulula emmotoka eno okuva mu mazzi n'okuzuula emirambo gy'abantu abagibaddemu.