ABALAMUZI ba kkooti ejulirwamu bayimbudde abasajja babiri abaali basindikibwa mu kkomera okumalayo emyaka 35 ku misango gy'okutta omukazi.
Augustine Byaruhanga ne Alex Magezi baakwatibwa ku by’okutta Jane Nyamagambo nga bamaze omusobyako omulambo gwe ne gusangibwa nga guseseyeeya ku Lake Edward.
Basimbiddwa ku kkooti enkulu e Fort portal ne bavunaanibwa okutta omuntu n’okumusobyako. Oludda oluwaabi lwaleeta abajulizi mukaaga kkooti kwe yeesigama okusingisa ababiri bano omusango bw’atyo omulamuzi n’abakaliga emyaka 35 buli omu.
Emisango egyabasibya baagizza mu 2015 e Fort portal.
Kati oluvannyuma lw’emyaka 10 mu kkomera abalamuzi okuli Hellen Obura, Dr. Asa Mugenyi ne Stella Alibateesa aba kkooti ejulirwamu baazudde nga kkooti yeesigama ku bujulizi obutaliiko kimatiza kyonna okusiba abasajja bano.
Abalamuzi mu nsala yaabwe baagambye nti kkooti yatunuulira bujulizi bwa mboozi awataali yenna yalaba bawawaabirwa nga batta omugenzi nga n’ebbaluwa y’omusawo eyagamba nti yali akakiddwa omukwano teyakakasa oba omugenzi yeegatta mu bikolwa ng’ayagala oba baamukwata.
Alipoota ya Dr. Hillary Mateke eyaleetebwa mu kkooti yalaga nti omugenzi yafa kiziyiro ate yali yeegasse mu bikolwa by’omukwano.
Abajulizi abalala okwali muliraanwa w’omugenzi ne landiroodi we bategeeza nti baawulira Byaruhanga ng’ayita omugenzi bagende beesanyuseemu wabula tebaamanya byaddirira.
Omujulizi omulala yagamba nti yasemba kulaba omugenzi n’ababiri bano mu bbaala nga banywamu yaddamu okumanya ,ng’afudde. Okusinziira ku balamuzi ono Teyamanya era teyalaba batta mugenzi.
Obujulizi obw’ebigambo obutaliiko bukakafu bwonna tebuyinza kwesigamibwako kusiba muwawaabirwa noolwekyo kkooti ng’erina kwesigama ku bujulizi obujjudde awatali kubuusabusa kwonna, bwe batyo baalagidde bano bayimbulwe kubanga kkooti teyekenneenya bulungi bujulizi.
Bano baajulira nga bayita mu looya waabwe Julian Nyaketcho nga bawakanya kkooti okwesigama ku bujulizi obutaliiko bukakafu okubasiba emyaka 35.