Omukazi eyayawukana ne bba emyaka 13 egiyise ng’amulanga obwavu, amunoonyezza ppaka mu kyalo gye yadda, emigungu n'agikuba mu kisenge ate nga mulimu omukazi omulala.
Olwatuuse ne yeeyanjulira omukyala gwe yasanze mu maka nga bwali muggya we era nti akomyewo kufumba kubanga ye mukyala.
Nassaazi Ng'annyonnyola ensonga ze
Winfred Nassaazi 41, ye yasitudde emigugu n'abaana be bataano n'anoonya taata w'abaana Mukasa Ronald 53, era yaggukkidde mu maka ga ssezaala we ng’asuubira nti bba akyasula ku luggya wabula ne bamulagirira ekyalo ekiddako nga bba gye yazimba ennyumba n'awasa n'omukazi omulala ayitibwa Nakagolo Zainah 35.
Bano batuuze ku kyalo Natteta mu Nazigo Town council mu disitulikiti y'e Kayunga. Mulamu we yamukulembedde n'amutwala ppaka mu maka ga Mukasa n'ayingiza emigugu n'abaana.
Kafeero Ng'atuuzizza ffamire
Wabula Mukasa alayidde nti kikafuuwe okuddamu obufumbo ne Nassaazi n'amujjukiza nti yamusuulawo lwa bwavu kati yafuna eyamulonda n'agumira obwavu bwe.
Nakagolo agambye nti muggya we n'abaana babadde basula mu ddiiro wabula ekiro yalabidde awo nga Nassaazi yeesozze ekisenge kyabwe n'atandika okugugumbula Mukasa olw'okumusuulirira era kino kye kyatanudde Nakagolo okuddukira ewa Collins Kafeero ow'amaka, abaana n'eddembe ly'obuntu eyabayise n'abatuuza.
Nassaazi yaleka Mukasa mu muzigo gwe baali bapangisa mu Ndeeba- Kampala mu 2013 olwo ye n'akwata abaana be n'adda e Gomba ewa nnyina ng’ayagala ne Mukasa agende agumbe ku buko nnyazaala abalabirire.
Mukasa bwe yava mu muzigo e Ndeeba yatambula adda Natteta mu Kayunga era nga naye emigugu yagituusiza ku luggya lwa kitaawe.
Kafeero yalagidde Nassaazi okwamuka amaka ga Nakagolo bunnambiro addeyo e Gomba gy'abadde nga bw'alinda bbaabwe lw’alimufunira amaka agage.