Amawulire

Abantu bajjumbidde okugula emijoozi gy'emisinde gya Kabaka

Katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayiga ayozayozezza Bannabyabufuzi  abawangudde ebifo by'obukulembeze n'abasaba okuteeka mu nkola ebiruubirirwa n'ebyetaago byabwo abaabalonda. 

Katikkiro ng'akwasa Namyalo emijoozi
By: Dickson Kulumba, Journalists @New Vision

Katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayiga ayozayozezza Bannabyabufuzi  abawangudde ebifo by'obukulembeze n'abasaba okuteeka mu nkola ebiruubirirwa n'ebyetaago byabwo abaabalonda. 

Ku Bannabyabufuzi abali mu Buganda, Mayiga agambye nti Buganda Bwakabaka era obulina ensonga zaabwo zebalina okuteeka mu nkola.

Okwogera bino asinzidde Bulange-Mmengo bwabadde akwasa abantu emijoozi gy'emisinde gy'amazaalibwa ga Kabaka.

Abaguze emijoozi  kubaddeko Hajjat Hadija Namyalo akulira ofiisi ya Ssentebe wa NRM e Kyambogo  ng'aguze emijoozi gya bukadde 15, 
Dr Ronex Kisembo ng'ono yeggwanyiza okukiikirira Uganda mu palamenti y'obuvanjuba bwa Afirika ng'aguze emijoozi gya bukadde 2,500,000/-, Omubaka omulonde owa Kira Munisipaali George Musisi 1,000,000/- ate n'amaka g'Obwapulezidenti bukadde 10.

 Mayiga era asabye abayizi abakyali mu masomero okwekuuma nga balamu era n'abasaba okujjumbira ensonga z'Obwakabaka kubanga bbo by'ebiseera bya Buganda eby'omumaaso.

Katikkiro nga'waayo emijoozi

Katikkiro nga'waayo emijoozi

Omumyuka asooka owa katikkiro era nga ye Ssentebe w'olukiiko olukulembedde okutegeka emisinde ggyamazalibwa oweek Al Hajji Twaha Kawaase kigongo ye Akuburiza Bana byabufuzi okweyambisa e kiseera kino ekisigaddeyo bajumbire okugula emijoozi ggyemisinde.

Dr. Kisembo yeebazizza Obwakabaka olw'enteekateeka eno eruubirira okutumbula eby'obulamu by'abantu.

Ye  Hajjat Namyalo yeebaziza  Kabaka ne Gavumenti ye olw'okulwanirira eby'obulamu by'omwana omuwala n'abasaba nti nga kaweefube Ono ng'akolebwa, basaanye okwekuuma, abakozi baleme kujoogebwa basajja abeegwanyiza ebyaabwe, babasiige n'endwadde.

Polof. Twaha Kaawaase nga ye Ssentebe w'Olukiiko olutegeka emisinde gya Kabaka akunze abantu okujjumbira okugula emijoozi ate bakeere mu Lubiri okusimbulwa nga April 12,2026.

 

Mu balala abaguze emijoozi kubaddeko Buganda Royal institute baguze emijoozi 4800, Muteesa 1 University  3000, St Lawrence University  100, Lubiri High school Main campus ne Buloba Campus emijoozi 2680, People's Medical Hospital e Gayaza baguze emijoozi gya kakadde kalamba, Ibra Star Depot e Wankulukuku emijoozi gya 1,500,000/-  Amasomero g'Abasodokisi okuli Chwa II Memorial College ne Hopeful Future SS e Ntooke- Kayunga 1,000,000/-.