Amawulire

Agness Nandutu bamukalize emyaka mu kkomera 4 n'obutaddamu kubeera na office ya Gavumenti okumala emyaka 10

KKOOTI ekalize Agness Nandutu emyaka 4 mu kkomera n'obutaddamu kubaako yafeesi ya gavumenti gyawerezaamu okumala emyaka 10.   

Agness Nandutu bamukalize emyaka mu kkomera 4 n'obutaddamu kubeera na office ya Gavumenti okumala emyaka 10
By: Harriet Nakalema, Journalists @New Vision

KKOOTI ekalize Agness Nandutu emyaka 4 mu kkomera n'obutaddamu kubaako yafeesi ya gavumenti gyawerezaamu okumala emyaka 10.

Omulamuzi Jane Okuo Kajuga mu nsala ye agaanye okusaba kweyabadde ataddemu nga ayita mu bannamateeka be okuweebwa ekibonerezo kyokuliwa ensimbi olw'ensonga nti sente obukadde 3 zabade alina okuliwa ntono nnyo ku musango gweyazza.

Ku nsonga yebyobulamu bwe omulamuzi yategeezezza nti bannamateeka be baandibadde baleeta obukakafu obulaga nti tasobola kumalako na mbeera ya kkomera.

Ono yagasseko nti Nandutu yaweebwa obwesigwa okuddukanya yafeesi eyo bwamugibwako nti ono yali avunaanyizibwa kinene okulaba nga abantu be Karamoja baalina okufuna amabaati omukulembeze w'eggwanga Yoweri Museveni geyali abawadde n'ekigendererwa ekyokumalawo okusanyaawo obutonde bwensi nga batema emiti.

Wano wasinzidde n'amukaliga emyaka 4  wamu n'obutaddamu kubaako yafeesi ya gavumenti gyawerezaamu okumala emyaka 10 n'amabaati agaterekebwa ku poliisi okuddizibwayo.

Nandutu yasingisibwa omusango gw'okusangibwa n'amabaati amabbe ku lunaku lw'okusatu nasindikibwa mu kkomera e Luzira gyagiddwa ne bamusalira ekibonerezo ekyo