ABAVUZI ba bodaboda bawanjagidde paasita Wilson Bugembe ayongere okubasabira okuvuunuka okusomozebwa okwenjawulo okubatomera nga bakola emiriimu gyabwe omuli okukubwa obutayimbwa,okubbibwako piki zaabwe ne birala.
Bano basinzidde mu kusaba okwenjawulo ku kkanisa ya The Worship House e Nansana ewa paasita Bugembe ne bawa obujulizi nti abamu essaala zebafuna zibayambye okutuuka ku birungi nga na bamu basobodde okuwasa ssaako okufuna pikipiki endaala n’okuyimirizaawo amaka gabwe.

Atwala Poliisi n'omuntu wa bulijjo e Nansana ng'ayogera
Ssentebe waabwe mu ggwanga Frank Mawejje wano weyasinzidde n'asiima paasita Bugembe olw’okubasembezza awatali kubasosola bwatyo najjukizza abavuzi ba boda okufisa akadde bagendeko mu masinzizzo okwebaza akatonda.
Abavuzi ba boda wano webasinzidde ne batonera paasita Bugembe pikipiki empya bwatyo nategeeza nga bwegenda okukozesebwa okufuna ssente ez’okuddukiriira abamu kubali mu bwetaavu.

Aba boda Boda nga bali ewa Pastor Bugembe
Bugembe yajjukizza aba bodaboda okutwaala obulamu bwabwe nga ekintu ekikulu okukendeeza obubenje n’okulaba nga bakuuma emirembe awatali ku twalira mateeka mungalo.
Ye atwaala poliisi n’omuntu wa bulijjo e Nansana Muhammad Ssebuliba yajjukizza abavuzi ba boda okugobereera amateeka naddala ag’okunguddo n’okubeera eky’okulabirako ekirungi.