Amawulire

Ow'emyaka 95 awandiise ekitabo ekikwata ku by'obuwangwa n'asaba abazzukulu okumukwasizaako mu kunoonnya eby'afaayo

NAMUKADDE ow’emyaka 95 atakudde obwongo n’aggyayo empapula n’ekkalaamu okuwandiika ekitabo ekikwata ku kika ky’Engabi n’ekigendererwa ky’okuyigiriza abazzukulu ennono n’obuwangwa bwakyo.  

Resty Namatovu
By: Peter Ssuuna, Journalists @New Vision

NAMUKADDE ow’emyaka 95 atakudde obwongo n’aggyayo empapula n’ekkalaamu okuwandiika ekitabo ekikwata ku kika ky’Engabi n’ekigendererwa ky’okuyigiriza abazzukulu ennono n’obuwangwa bwakyo.

Resty Namatovu eyasangiddwa mu maka ge e Bulenga mu Wakiso y’agamba nti bw’alaba ensangi zino abantu tebakyamanyi nnono kati mbu bw’agissa mu buwandiike oba olyawo abaliwo n’abalijja balisomako okugitegeera.

Newankubadde obw’ongo bw’amuweerezza kuwandiika naye ayagala n’abalala abamanyi ebyafaayo, emizizo, ennono n’obuwangwa bw’Engabi bamwegatteko okukimaliriza ng’aluubirirwa okukituuma “Ennono n’obwangwa bw’Engabi.”

Mu bimu Namatovu bye yatadde mu kitabo kino lwe lwazi olukulu ku butaka bw’Engabi e Buwanda mu Mawokota w’agamba nti Jjajjaabwe Nsamba Lukonge eyasooka we yabulira era we yazannyiranga omweso.

Anyumya nti ebifo ebimu tebifiiriddwako bulungi nga byetaagisa okutereeza okudda ku nnono yaabyo. Yanokoddeyo embuga y’abalongo gy’agamba nti eno yalekebwa ttayo. Ono era ku Butaka bwabwe kubeerako ennyumba emu yokka ey’omutaka yekka.

Tekulundibwako mbizzi, ennyumba butuukiro etasulwamu n’ebirala by’agamba nti biteekeddwa okusomesebwa abantu okubimanya n’akubiriza n’abazzukulu okufaayo okulambula Obutaka okwongera okumanya.

Ono agamba nti yafuna okweresebwa ng’alaba ekika kisaanawo n’agamba nti olw’okuba asigazzaayo akaseera katono okuva mu nsi, kwe kusalawo okuleka omukululo abazukkulu kwe banaalabira.

Yakubirizza n’abebika ebirala bulijjo okulambula embuga zaabwe n’okumanya eby’obuwangwa wamu n’okuwandiika ebikwata ku bika byabwe okumanyisa abalala.