Amawulire

POLIISI e Katwe, ekutte akabinja k'abavubuka abagambibwa okubbisa ebijambiya nga beyambisa pikipiki

POLIISI e Katwe, ekutte akabinja k'abavubuka abagambibwa okubbisa ebijambiya nga beyambisa pikipiki.

POLIISI e Katwe, ekutte akabinja k'abavubuka abagambibwa okubbisa ebijambiya nga beyambisa pikipiki
By: Bukedde Omusunsuzi, Journalists @NewVision

POLIISI e Katwe, ekutte akabinja k'abavubuka abagambibwa okubbisa ebijambiya nga beyambisa pikipiki.

Kidiridde okukwata Olwo, amanyiddwa nga Tom, okuva ku Mubaraka e Makindye ng'atambulira ku pikipiki nnamba UMA 979 HA  era mu kumukunya, nti n'akkiriza okwenyigira mu bubbi buno.

Oluvannyuma poliisi ekoze ekikwekweto e Kapeeke zoni e Kibuye 1, n'ekwata banne 9 nga bano , kuliko Latif Boogere amanyiddwa nga Musoga ne Ivan Turyahirwa amanyiddwa nga Musiraamu n'abalala.

Pikipiki 4 ezigambibwa okweyambisibwa mu bunyazi, nazo , zizuuliddwa . Bano , bagambibwa okwenyigira mu bubbi obw'enjawulo omuli e Kizungu Salaama mwe babbira shs 350,000/.

Amyuka omwogezi wa poliisi mu Kampala, Luke Oweyesigyire, agambye nti baludde nga babba ssente, amasimu n'ebirala ebyamangu,ne babulawo