ABANTU babiri ababadde batambulira ku boodabooda, bafiiriddewo mu kabenje akagudde e Nakayiba ku luguudo oluva mu Nyendo okudda e Masaka.
Akabenje kabaddewo ku ssaawa ng'emu ez'akawungeezi , mmotoka FUSO nnamba UA 585BK bw'ebasaabalidde ku pikipiki nnamba UFA 035U omugoba waayo n'omusaabaze omukyala abaddeko , bombi ne bafiirawo.
Kitegeezeddwa nti Fuso ne pikipiki, byombi bibadde biva Masaka okwolekera mu Nyendo nti bwe batuuse e Nakayiba owa pikipiki kwe kuweta ng'adda ku ddwaaliro e Kitovu, Fuso n'ebasaabala.
Omwogezi wa poliisi e Masaka ,Twaha Kasirye, agambye nti emirambo gyombi, gitwaliddwa mu ggwanika ly'eddwaaliro e Masaka okugyekebejja nga n'ebidduka , bitwaliddwa ku poliisi ng'okunoonyereza kukolebwa.