Amawulire

Abagambibwa okubba ebyuma by'amasannyalaze bakwatiddwa e Mukono

ABANTU babiri abagambibwa okwenyigira mu kubba ebintu by'amasannyalaze, bakwatiddwa poliisi e Mukono.

kuliko Paul Kakooza 24 ne Bernley Tenywa 32 nga bali ku poliisi e Mukono
By: Godfrey Kigobero, Journalists @New Vision

ABANTU babiri abagambibwa okwenyigira mu kubba ebintu by'amasannyalaze, bakwatiddwa poliisi e Mukono.

Abakwate, kuliko Paul Kakooza 24 ne Bernley Tenywa 32 nga bonna beeyita bakamyufu.

Bibadde Kasai e Mukono, abasajja bano bwe basangiddwa mu byambalo by'ekitongole kya UEDCL era ne bayingira mu ssomero lya Emeralts P/S nga befuula abasoma meter .

bano ababadde batambulira ku pikipiki okuli ennamba  UFR 408P ze basiize langi eya blue okwefaananyiriza ez'ekitongole , nti balinnye ku muti ne bawanulayo  waya y'amasannyalaze.

Omwogezi wa poliisi mu Kampala,  Recheal Kawala, agambye nti bakuumirwa ku poliisi eyo ng'okubuuliriza kugenda mu maaso.