OMWANA ow'emyaka Esatu, afiiridde mu kiyungu ekikutte omuliro e Kassanda.
Bibadde ku kyalo Bakule mu Ggombolola y'e Bukuya mu disitulikiti y'e Kassanda, omuliro bwe gusse Jeyideni Lubwama abadde yebase mu kiyungu.
Kigambibwa nti mu kiyungu kino, Nnamukadde Esther Rukundo, jjajjaawe, mw'abadde atereka amafuta ga petulooli g'aguza ab'ebidduka era nga naye yakoseddwa ng'ataasa muzzukulu we n'aweebwa ekitanda mu ddwaaliro e Mulago .
Omwogezi wa poliisi mu Wamala Lamerk Kigozi alabudde abantu okwewala okusula n'amafuta gano mu mayumba nti kuba kyabulabe nnyo.