Amawulire

ABASAJJA babiri abagambibwa okusangibwa n'emmundu mu bukyamu, bakwatiddwa poliisi e Iganga

ABASAJJA babiri abagambibwa okusangibwa n'emmundu mu bukyamu, bakwatiddwa poliisi e Iganga.

Omukwate ng'ali n'emmundu gyeyasangiddwa nayo
By: Godfrey Kigobero, Journalists @New Vision

ABASAJJA babiri abagambibwa okusangibwa n'emmundu mu bukyamu, bakwatiddwa poliisi e Iganga.

Ku bano, kuliko omukozi wa Mwana Rice Millers e Busei A, ne Manegya wa Safety Services Uganda Ltd , ku bigambibwa nti emmundu , babadde bagikuumira mu kiyumba ekitannaggwa.

Abakwatiddwa, kuliko Sowali Kisambira amanyiddwa nga Innocent Muwanguzi ne Ayub Ngobi nga mutuuze w'e Nakilulwe mu muluka gw'e Magogo mu Ggombolola y'e Nawanyingi e Iganga.

Kigambibwa nti mu wiiki ewedde, dereeva era omutuuze w'e Bukalambwa e Nakalama Amiri Ngobi,  yasanze omuntu mu kiyumba kye  e Bukobooli, nti omuntu n'adduka n'alekawo emmundu ekika kya SAR n'amasasi 2 wamu n'essimu bbiri ,n'engoye.

Omwogezi wa poliisi mu Busoga East, Micheal Kasadha, agambye nti mu kunoonyereza ne bakwata Kisambira , mu kiseera ekyo nga yabadde mu kaduukulu e Iganga ku misango gy'okubba eggaali era nga mu kitabo bamuwandiseemu nga Banuli Walujjo, eyalonkomye byonna

Ayongeddeko nti Manegya Ayub naye akwatiddwa, lwa kulagajjalira n'okulemwa okutegeeza poliisi ku kukubula kw'emmundu eyo okuva mu kitongole kyabwe ekikuumi.