Amawulire

Akakiiko akalondoola eby'okuzimba kanjudde ennongoserezza mu tteeka eppya

AKAKIIKO akalondoola omutindo gw'ebizimbe mu ggwanga lyona kanjudde ennongosereza mu tteeka lyako eppya bwebabadde mu lukungaana lw'abamawulire ku media center mu Kampala

Herbert Zziwa omwogezi w'ekitongole ng'annyonnyola
By: Racheal Nankya, Journalists @New Vision

AKAKIIKO akalondoola omutindo gw'ebizimbe mu ggwanga lyona kanjudde ennongosereza mu tteeka lyako eppya bwebabadde mu lukungaana lw'abamawulire ku media center mu Kampala

Akulira akakiiko kano aka National Building Review Board Eng. Flavia G. Bwire agamba mukusooka baalina etteeka lya "Building Control Act" wabula baalizuula nga lirimu ebirumira ne bakolamu ennongosereza nga bayambibwako palamenti era mu kiseera kino lyayisibwa Gavumenti ne Pulezidenti Museveni naliteekako omukono

Agamba ezimu ku nnongosereza zebaakola mu tteeka lino mwemuli okukendeeza ku batuulanga ku lukiiko lwa National Building Review Board nga mu kusooka baali bamemba 16 wabula kati bali 9

Mu kiseera kino balina obuvunanyizibwa okuwuliriza okwemulugunya okuva eri omuntu sekinoomu n'obukiiko obuvunanyizibwa ku by'okuzimba mu bitundu eby'enjawulo

Mu tteeka eppya buli kibuga, munisipaliti balina okubeera n'obukiiko obuvunanyizibwa ku by'okuzimba

Akakiiko ka National Building Review Board kalina obuyinza okuyimiriza ekizimbe ekizimbibwa oba okugamba abantu okwamuka ekizimbe singa balabula akakiiko akavunayizibwa ku by'okuzimba nti ekizimbe si kya mutindo wabula nekatabaako kyekakola

Akakiiko kano kaakuwa ebibonerezo eri abasangibwa nga tebalina pamiti zibakiriza kuzimba wamu n'okuwaaba eri poliisi ku nsonga ezikwatagana n'ebizimbe ebitali bya mutindo ebizimbibwa mu bitundu

Eri abo abatalina lukisa kuzimba, gyebuvuddeko babadde basasula akakadde kamu oba okusibibwa emyaka ebbiri wabula mu kiseera kino baakusasula emitwalo ena ku buli "square meter" gyanaba azimbyemu

Ababadde basangibwa nga olukisa lwagwako olubakiriza okuzimba, gyebuvuddeko babadde basasula emitwalo 50 oba okusibibwa emyezi 13 wabula mu kiseera kino baakusasula emitwalo ena ku buli square meter

Abo abazimbisa enkola ezawerebwa baakusasula emitwalo 10 ku buli square meter ku kizimbe kyona kyoba ozimba

Ku bubenje obubalukawo ku bizimbe, eri abo abaviiriddeko obubenje buno babadde basasula obukadde 5 mu emitwalo 60 oba okusibibwa emyaka 12 wabula kati baja kusasula obukadde 10 oba kusibibwa emyaka 12 n'okukola ebibonerezo byombi

Herbert Zziwa omwogezi wa National Building Review Board agamba etteeka terize kulemesa bantu kuzimba wabula okukakasa nti ebizimbe eby'omutindo bizimbibwa okusobola okutaasa bannayuganda n'ebintu byaabwe

Agamba etteeka lyakutandikka okuteekebwa mu nkola bwebanamaliriza okuwandiika ebiragiro nebiteekebwako omukono minisita okuyamba etteeka lino okuteekebwa mu nkola