Amawulire

Abatunuulizi b'ebyenfuna basabye Gv't eggyewo omusolo ku Mobile Money

ABAKUNGU mu by’enfuna nga bayita mu kibiina ki CSBUG basabye gavumenti okukendeeza oba okuggyawo omusolo oguggyibwa ku bantu abakozesa mobile money ddala abaggyayo ssente kubanga kino kyandiviirako abantu okutandika okutambuliza ssente mu ngalo, ekintu ekiyinza okuteeka obulamu bwabwe mu matigga.

Abatunuulizi b'enfuna nga boogerako eri bannamawulire
By: Bukedde Omusunsuzi, Journalists @NewVision

Bya Aidah Nakazzi

ABAKUNGU mu by’enfuna nga bayita mu kibiina ki CSBUG basabye gavumenti okukendeeza oba okuggyawo omusolo oguggyibwa ku bantu abakozesa mobile money ddala abaggyayo ssente kubanga kino kyandiviirako abantu okutandika okutambuliza ssente mu ngalo, ekintu ekiyinza okuteeka obulamu bwabwe mu matigga.

Olukungaana luno lubadde lugendereddwamu kubaganya birowoozo ku ngeri government gyeyinza okukendeeza ku misolo egigenda okussibwa ku mobile money saako n'okuggyako omusolo ku masimu agayingira eggwanga okusinziri ku mbalirira y'omwka gwe nsimbi 2026/2027  

Ssenkulu w’ekitongole kya Civil Society Budget Advocacy Group (CSBAG) Julius Mukunda agamba nti governmet etaddemu amaanyi mu kubunyisa internet mu ggwanga lyona naye enkozesa yaayo ekyali wansi nnyo nga ekizibu kikyali ku beeyi yamasimu agaliwagulu era wano wasabidde government okujjako omusolo ku ssimu agayingiira eggwanga olwo no enkozesa ya internet yeyongere .

John kakungulu walugembe nga ono yakulira ekitongole Kya Small-scale businesses and Micro, Small, and Medium Enterprises agamba nti omusolo gwebateeka ku mobile money mungi dala nga guvilako abantu abamu nadala ab’omukyalo okukosebwa kubanga abomukibuga bo basalawo kukozesa mabanka.

Bano era bemulugunyizza ku musolo ogujibwa ku masimu agayingira mugwanga nadala aga smart fones kyagamba nti kikosa banansi abakolela emirimu ku sim .

John walugembe era agamba nti ebitundu 65% ebikolo abantu abali mu ggwanga bavubuka era nga okunonyereza kulaga nti abasinga batandise okwetanira enkozesa ye mitimbagano gamba nga tiktok ,whatsap ,facebook,Instagram nemirala migyi okutunda ebintu byabwe nolwekyo mu kifo kya government okuteeka omusolo omungi ku massimu yandibadde oguteka ku internet .

Josephine tumwebaze nga ono yakikiridde Aba mobile money agamba nti emabegako mobile money ebadde yeyagaza abantu abadde bajjikolako naye kati okusinziira ku mbalirira ya 2026/2027 abantu bangi bavudde mu mulimu guno olwesonga nti ba customer bakukendera saako transaction okwesaala nga kati Abantu betanira agent bank olwesonga nti yo ebisala byayo biri wansi wogerageranya ne mobile money era wano wasabidde government okujja omusolo omungi ku business ya mobile money.