Amawulire

AKULIRA Airtel mu Africa, Sunil Taldar agenyiwaddeko e Bulange-Mmengo

AKULIRA Airtel mu Africa, Sunil Taldar agenyiwaddeko e Bulange-Mmengo okusisinkana Katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayiga okwongera okunyweza enkolagana y'enjuuyi zombi. 

Katikkiro Mayiga ng'ayaniriza Sunil Taldar
By: Dickson Kulumba, Journalists @New Vision

AKULIRA Airtel mu Africa, Sunil Taldar agenyiwaddeko e Bulange-Mmengo okusisinkana Katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayiga okwongera okunyweza enkolagana y'enjuuyi zombi. 

Katikkiro Mayiga ne Sunil mu ofiisi ye

Katikkiro Mayiga ne Sunil mu ofiisi ye

Mayiga agambye nti okujja kw'omukulu ono kabonero akalaga nti Airtel neteefuteefu okwongera okuwagira emirimu gy'Obwakabaka okuli emisinde gy'amazaalibwa ga Kabaka gyebawagidde Kati emyaka 13 be ddu. 

Sunil awerekeddwako Soumendra Sahu ng'ono yatwala Airtel mu Uganda, Ali Balunywa ng'akulira Bakitunzi, David Birungi omukwanaganya wa Airtel n'ebitongole ebirala, Maj Herbert Ndiwalana. 

Katikkiro Mayiga ng'ayogera ku kukyala kwa Sunil Taldar akulira Airtel mu Africa

Katikkiro Mayiga ng'ayogera ku kukyala kwa Sunil Taldar akulira Airtel mu Africa

Ate mu kwaniriza Omugenyi Ono Katikkiro Mayiga abadde n'Omumyuka Owookubiri owa Katikkiro era Omuwanika wa Buganda, Robert Waggwa Nsibirwa, Minisita w'olukiiko, Kabineeti n'abagenyi Noah Kiyimba ate n'omukungu wa Majestic Brands, Remmie Kisakye. 

Sunil eyatuuse mu Uganda ku lwokubiri agambye nti agenda kudduka emisinde egya Kiromita taano era neyeyama nga bwebali abeetegefu okuvunjirira emirimu gy'Obwakabaka bweyebazizza olw'okukkiriza okukolagana nabo ku nsonga ez'enjawulo okuli okulwanyisa endwadde nga Okutonnya mu bakyala, Nnalubiri ne Mukenenya. 

Katikkiro Mayiga (ku kkono) ng'awuliriza Sunil Taldar (Owookubiri ku kkono) akulira Airtel mu Africa abadde amukyaliddeko mu ofiisi ye e Bulange- Mmengo. Ku ddyo ye Soumendra Sahu akulira Airtel mu Uganda wamu ne Maj. Herbert Ndiwalana. EKIF Dickson Kulumba

Mayiga agambye nti wakwanjula Sunil eri Kabaka Mutebi II ku lwa Ssande mu Lubiri e Mmengo bwanabeera azze okusimbula abaddusi b'emisinde gy'amazaalibwaage ag'emyaka 71 egy'ekitiibwa. 
Katikkiro Mayiga atonodde Omugenyi we ebirala eby'enjawulo n'akatabo akalimu Kalonda yenna akwata ku Bwakabaka bwa Buganda.