POLIISI e Kisoro eri mu kuyigga omukazi , agambibwa okukkakkana ku bba n'amufumita ebiso mu mugongo, ebimuttiddewo.
Ettemu, libadde ku kyalo Gasenyi mu muluka gw'e Mabungo mu ggombolola y'e Nyarusizo mu disitulikiti y'e Kisoro, Juliet Nyiraguhirwe gy'agambibwa okutta bba Bosco Rurakabije 35.
Kigambibwa nti omugenzi , yakomyewo awaka ng'atamidde nti ne bafuna obutakkaanya ne mukyala we , Bosco n'agezaako okuggyayo akambe afumite Juliet n'amusinza amaanyi n'akamufumita emirundi ebiri mu mugongo, n'abulawo.
Omu ku baana, Fabiano Irakiza , agamba nti oluvannyuma lw'ettemu, nnyina yadduse era ensonga kwe kuzibuulira ssentebe wa LC1 Venansi Munyanganizi eyayise poliisi.
Omwogezi wa poliisi mu Kigezi , Elly Maate, agambye nti basobodde okuzuula akambe n'oluso ebyakozeseddwa mu ttemu nga bwe bayigga omukyala.