Amawulire

Balumirizza abakulembeze ba disitulikiti okutulugunya abeebibanja e Mubende

ABAKULEMBEZE ba disitulikiti y’e Mubende batuuyanidde mu maaso ga minisita omubeezi ow’ebyettaka Dr. Sam Mayanja, abatuuze bwe babalumirizza okwekobaana n’abagagga ababatulugunya ku ttaka nga babagoba n’okubakolako ebikolobero.

Mayanja ng’ayogera mu lukiiko lwe baatuuzizza e Kibuye Vuga.
By: Bukedde Omusunsuzi, Journalists @NewVision

ABAKULEMBEZE ba disitulikiti y’e Mubende batuuyanidde mu maaso ga minisita omubeezi ow’ebyettaka Dr. Sam Mayanja, abatuuze bwe babalumirizza okwekobaana n’abagagga ababatulugunya ku ttaka nga babagoba n’okubakolako ebikolobero.
“Kojja waffe yajingirira ebiwandiiko ng’ayambibwako ssentebe wa disitulikiti oyo yennyini ali awo era ku ttaka lino ssentebe oyo alinako n’ente ze,” Frank Namanya, omu ku batuuze abaagobwa ku ttaka bwe yagambye.
Baabadde mu lukiiko olwayitiddwa minisita Mayanja ku kyalo Kibuye Vuga mu ggombolola y’e Kitenga mu Mubende. Abatuuze mu ffamire ezisoba mu 100 baludde nga bagobaganyizibwako.
Namanya, omu ku baasoose okwogera yawadde ebyafaayo by’ettaka lino n’agamba nti kitaawe yafuna liizi mu 1970 nga naye tannazaalibwa kyokka mu myaka gy’e 2000, baatandise okugobaganyizibwa.
Yanenyezza abakulembezeba disitulkiti be yagambye nti be bamu ku balemesa ensonga okuggwa kuba bo bennyini balundirayo n’okulimirayo nga kibawaliriza okuwagira ababasengula. Yagambye nti okumala ebbanga, abantu bazze batuusibwako ebikolobero omuli okukubwa n’okutemulwa era bangi balina enkovu abalala bawang’anguse nga tebalina gye badda. Minisita yayise abatuuze abalina obujulizi ku bibatuusibwako kyenkana abaabadde mu lukiiko bonna ne basituka.
BALOJJA OBUKAMBWE BW’OMUGAGGA
“Ekimala kimala, Ssebo minisita tusaba wabeewo ekikolebwa naye abantu baffe batulugunyiziddwa ekimala ate ababikola tetubasobola,” Mikayiri Tabaro, ssentebe w’ekyalo bwe yagambye.
Abalala balumiriza omukozi amanyiddwa nga Andrew Akankwasa nti effujjo lyamusukka nga ky’ayagala ky’akola. “Bankuba ne bansuula awo ne nfuna abantwala mu ddwaaliro n’oluvannyuma ne bannyogerayo e Mubende. N’okutuusa kati ekibanja kyange kye bakozesa,” Steven Mandelabwe yagambye.
Abalala balumiriza RDC w’e Mubende nti akwatagana n’ababagoba kuba alundirayo. Minisita yalagidde Akankwasa okwewozaako n’obuvunaayizibwa bw’alina ku ttaka lino era mu kwanukula yagambye nti ye mukozi bukozi.
AKWATIDDWA
Minisita yategeezezza nga bwe yategedde ensonga z’abatuuze n’abasomera amateeka n’ebiragiro bya Pulezidenti. Yategeezezza nti abaddamu okufuna liizi baali bakola nsobi n’alagira ebiwandiiko byabwe byonna bisazibwemu kuba tebaagoberera mateeka.
Yalagidde poliisi okukwata Akankwasa gwe baalumirizza okukola effujjo era baamutwaliddewo ku poliisi. Yakyukidde ssentebe wa disitulikiti, Michael Ntambi n’amulabula ng’amateeka bwe gatajja kumutaliza. Yasuubizza okuweereza ensonga zino mu bukiiko obw’enjawulo bongere okumunoonyerezaako.
“Okusinziira ku byogerwa, tosaanidde kukulembera bantu era singa mbadde ggwe, nandyetonze ne ndekulira obukulembeze,” Mayanja bwe yamugambye. Yayise RDC wabula ne yeegaana okulundira mu kitundu ssaako okuba n’akakwate ku ttaka lino.
Yalagidde abasenze badde ku ttaka lyabwe n’alabula nti tewali alina kubataataaganya kuba baliwo mu mateeka. Yalagidde poliisi ne ofiisi ya RDC okulaba ng’abasenze bano basigala mu mirembe era babayambe okudda ku ttaka lyabwe.
EBIKWATA KU TTAKA
Liwerako sikweya mayiro 12 nga liri ku byalo; Kibuye Vvuga, Gogonya ne Njagazi. Liri ku poloti 3, Bbulooko 357 ne poloti 4, Bbulooko 357.
Lyasooka kuba lya Yokaana Lugaavu eyafunako Liizi mu 1970. Bwe yafa, lyasigala mu ba famire era Namanya ye yaweebwa obuvunaayizibwa ku lwa famire. Oluvannyuma Obey n’atandika okulikaayaanira era bwe yafa, abakozi be be baalisigalako