ABAKUNGU mu kulwanyisa ekirwadde kya Mukenenya bawanjagidde gavumenti eyongere ensimbi n'óbuvujjirizi okutuusa kuno eddagala eritangira okusaasaana kwa mukenenya eryémpiso erimanyiddwa nga Lenacapavir mu bantu abasoba mu kakadde akamu neekitundu abalyetaaga mu Uganda.
Eddagala lya Lenacapavir liweebwa omuntu mu doozi za mirundi 2 nga buli doozi ajifuna oluvanyuma lwémyezi 6, era liweebwa abantu abali mu bulabe bwokukwatibwa akawuka ka mukenenya.
Akulira ebyokulwanyisa akawuka ka mukenenya mu kitongole kya Uganda Aids Commission, Dr Daniel Byamukama, agamba nti eggwanga bweriba ly’akubako werituuka nókubaako ky’erikyusa mu kulwanyisa mukenenya, twagala okulaba nga gavumenti eryongera ensimbi ez’okugula doozi zeddagala lino n’okulireeta wano mu ggwanga.
Bwabadde alambulula obwetaavu bweddagala lino, Dr. Byamukama agambye nti eggwanga litandiseeko ne doozi 19, 000 zokka sso nga obwetaavu buli mu bantu 37,000 abakwatibwa akawuka buli mwaka, okusinziira ku alipoota eyakolebwa omwaka oguwedde.
Agamba nti kino kitegeezza eggwanga lyeetaga doozi akakadde kamu neekitundu era olwokuba zino doozi 19,000 zaavudde mu bavujjirizi kyekiseera ne gavumenti yeegulire doozi endala ezaayo, kyokka asanyukidde ekyokutandika okulikozesa wano mu ggwanga.
Alipoota eyómwaka 2025 ekwata ku mukenenya mu ggwanga eraga nti abantu akakadde kamu n'ekitundu bebawangala n'akawuka kano mu Uganda, nga ku bano emitwalo 93, bawala n'abakyala sso nga emitwalo 57 baami n'abalenzi.
Alipoota eno era eraga nti abavubuka wakati w'emyaka 14-25, abawera 14,000 omwaka oguwedde bebakwatibwa akawuka nga ku bano ebitundu 70% bawala sso nga abalenzi bakola ebitundu 17%. Kyategerekekka nti bano okukwatibwa akawuka kisinga kuva mu kwenyigira mu bikolwa ebyomukwano nga tebagoberedde nkola zakwetangira kawuka kubasaabaana.

Minisita Ruth Aceng ng'ali n'omukungu wa UNAIDS
Akawuka ka mukenenya mu Uganda kigambibwa nti kakendeddeko okutuuka ku bantu 37,000 mu mwaka 2024, sso nga abaana 4,700 bebakyazalibwa nakawuka buli mwaka.
Ebiwandiiko byekitongole ekirwanyisa mukenenya mu nsi yonna ekya, UNAIDS biraga nti abaana ebitundu 50% omugatte bebaana 2,350 kwabo 4,700 abazaalibwa ne mukenenya kyava ku ba maama baabwe okugenda ekikerezi mu malwaliro okunywa eddagala nokulaba abasawo.
Ssenkulu wa UNAIDS mu Uganda, Jacqueline Makokha, agamba nti okutongozebwa kwenkozesa yeddagala eryempiso eritangira okusaasaana kwa mukenenya, kyakuyambako okuwa omukisa abantu okufuna enkola ezokukozesa okwewala obulwadde okubawereba.
Makokha agambye nti okutongozebwa kweddagla lya Lenacapavir mu Uganda, kujjidde mukiseera ekituufu nga waliwo abantu 100 buli lunaku abakyakwatibwa akawuka ka mukenenya, ngékyeralikiriza ennyo abasing bawala naabakyala abato.
Agamba nti waliwo n'enkola endala ng’okumira empeke za Prep, Kaweta akamanyiddwa nga “The Diprivine Ring, nókukozesa obupiira kiyite Condom.
Makokha agamba nti UNAIDS yakwongera okuwagira okuwagira amawanga nga Uganda, okutereeza amateeka, okufuna eddagala ku nsimbi entonotono nebirala.
Asabye amawanga okwongera okuteekawo ensimbi n’ensawo ezenjawulo ezisobola okulwanyisa obulwadde, okugula tekinolojiya avumbuddwa, okwewala ebigwa tebiraze.
Eddagala lya Lenacapavir lyatongozeddwa mu mawanga Africa amalala okuli Eswatini, Kenya, Lesotho, Mozambique, Nigeria, South Africa, Zambia, Zimbabwe kati ne Uganda.
George Tamale okuva mu kitongole kya Global Fund board, era omumyuka wa ssentebe wakakiiko akalondoola enkozesa yeddagala lino mu Uganda, agamba nti okutongozebwa kweddagala lino kitegeeza nti Uganda erina okwongera okwetegekera ebyobulamu byayo nokubyongera obuvujjirizi bwensimbi.
Ssabiiti eyise nga 14 omwezi ogwokuna, eggwanga lya America nékitongole kya Global Fund and Gilead Sciences, ekikola eddagala lya Lenacapavir, baalangirira nti baakutuusa eddagala lino mu bantu abakunukiriza mu bukadde 3 naddala mu mawanga agalyeetaga nga n’omwaka 20028 tegunayita.
Amyuka kulira ekitebe kya America mu Uganda, Mikael Cleverley, bweyabadde mu ku mukolo ogwókutongoza eddagala lya Lenacapavir okukozesebwa mu Uganda, ku mukolo ogwabadde mu ddwaliro ekkulu erye Lira, kulwokutaano nga 17 April, yategezezza nti America nekitongole kya Global fund nga bayita mu ministry yeebyobulamu eyaakuno bakuwa Uganda doozi zeddagala lya Lenacapavir ezikunukiriza mu 46,000 omwaka guno 2026.
Minister w’eby’obulamu, Dr. Jane Ruth Aceng, agamba nti eddagala eryémpiso lino, nteekateeka nene esuubirwa okuyambako mu kulwanyisa mukenenya mu Uganda, kyokka yasabye abantu obuteerabira enkola ezibaddewo mu kulwanyisa akawuka ka mukenenya, naddala enkola eya ABC.
Dr Herbert Kadama, akulira enkozesa yeddagala lyekikula kino mu ministry yeebyobulamu, agamba nti okutongoza eddagala lino mu kibuga Lira, kabonero akalaga nti lyolekedde okutambuzibwa mu bitundu byeggwanga ebyenjawulo era basazeewo okulitongoleza e Lira kuba abaayo bali ku bitundu 10% mu kusaasaana kwobulwadde sso nga eggwanga lyonna liri ku bitundu 4.9%