GAVUMENTI yatongozza empiso eziyiza siriimu okumala emyezi mukaaga ng’omuntu agifunye tasobola kufuna bulwadde buno ne bwaba yeegasse n’oyo alina akawuka kano.
Empiso eno eyitibwa Lenacapavir yagezesebwa mu nsi 2; Uganda ne South Africa n’ezuulibwa ng’esobola okuziyiza omuntu ebitundu 99.9 ku 100.
Mu bano mulimu abaana n’abavubuka abatandika okwegatta, bamalaaya, abavuga lukululana, abafumbo nga omu ku bbo alina akawuka ng’omulala talina naabo abakola mu bifo ebisanyukirwamu ng’ebbaala ne gyebakolera masaagi.
Omukugu era eyakulira okugezesa eddagala lino, Dr. Flavia Matovu Kiweewa yategeezezza byolina okukola obutasobya ddagala lino.
Empiso eno ekuyambako okubeera n’obwerinde bwa myezi mukaaga nga tozzeemu kumira mpeke. Kiweewa agamba nti abantu babadde batyanga okumira eddagala mu bantu olw’okusosolebwa era nga bino byonna empiso yakubitangira.
Mu kwogerako ne Munayuganda eyasoose okufuna empiso eno mu Lira, yategeezezza nti teyafunyemu wadde okulumizibwa okujja n’okugemebwa nga ne Dokita Kiweewa yatukakasa nti okujjako ng’omubiri gwo gwanjawulo, tewali bulabe bwonna omuntu bw’ayinza okufuna.
Akulira okulwanyisa obulwadde bwa mukenenya mu minisitule y’ebyobulamu, Herbert Kadaama yategeezezza nti empiso eno tetundibwa ng’ebeera ya bwereere. “Empiso eno si yakuweebwa buli muntu. Olina okuba nga emikisa gyo okufuna siriimu giri waggulu nnyo okugeza singa muganzi wo alina akawuka ka siriimu oba ng’oli malaaya.” Kadaama yategeezezza ntiGavumenti yaakwongera okuwa
Bannayuganda enkola endala omuli kondomu n’empeke za buli lunaku eziziyiza siriimu eri abo bonna abataasobole kufuna mpiso eno.
Mu 2024, Bannayuganda 37,000 be bafuna akawuka akaleeta siriimu nga ebitundu 65 ku 100 baali bavubuka ate nga bawala. Eno y’ensonga lwaki Gavumenti yasazeewo bano
bassibwe ku mwanjo okufuna empiso eno.