AMYUKA sentebe Wa boodi ya private sector foundation Uganda Sarah Kagingo asiimye abantu nadala abakyala olw'okuwuliriza omulanga gwa pulezidenti ogw'okwongera omutindo ku bintu ebitali bimu nadala ebirime ebirimwa kuno
Kagingo agambye nti bano tebakoma kukyakwongerako mutindo gwokka naye batuumbula obulamu obulungi , ne byendya ebitaasa bulamu bw'abantu mu katyabaga.

Sarah Kagingo ng'ali mu mwoleso gwebyendiisa e Lugogo
Kagingo bino abyogeredde Lugogo mu kibangirizi Kya bannamakolero bwabadde aggulawo omwoleso ogw'enaku ebiri ogwatuumiddwa Ebyendiisa Expo ogutegekeddwa aba Global Alliance for Improve Nutrition( GAIN)
Omwoleso guno gwetabiddwako aboolesi n'abakugu mu byendiisa abasoba mu 200 okuva mu Uganda n'amawanga amalala agatweetolodde era aboolesi okusiinga essira balitadde ku nva endiirwa n'emere enaansi nga balaga lwaki kikulu okwetanira okulya enva endiirwa n'emere kwosa enfuumba yabyo.

Sarah Kagingo ng'ali mu mwoleso gw'ebyendiisa
Josephet Byaruhanga okuva Ku kitebe Kya budaaki mu Uganda asabye gavumenti okusaawo empenda ezinasobozesa Uganda okukuuma ensiigo z'enva endiirwa nga katunkuma , nakati ejjobyo , ebbuga n'ebirala okusobola obutasaanawo.
Ye Ddamalie Ssali akulira Gain mu Uganda nti omwoleso kyebagala mu mwoleso guno be bantu okumanya endya enuungi nga betanira emere enaansi n'enva endiirwa kiyambe abantu okulwanyisa endwadde nga kookolo nendala eziva ku ndya embi era nti y'ensonga lwaki basalawo okuguleka nga gwa bwereere okusobozesa buli omu asobole okujja okuyiga endya enuungi.

Sarah Kagingo ng'alaga ebimu ku biri mu mwoleso
Bbo aboolesi balaze byebaze okwolesa omuli enva endiirwa , emere enaansi nga lumonde, ensujju n'ebirala , omubisi gw'enjuki , amata ne yogati vaa mu mbuzi , obungi obuva mu soya, omuceere, obulo ne kasooli ebirimu ekiriisa nadala eri abaana abato.