PULEZIDENTI Yoweri Museveni anenyezza Bannayuganda olw’okwesiba mu bwavu nga beeyagalidde n’agamba nti, abantu bangi basobola okukola ne bagaggawala naye badda mu kwebaka bwe bazuukuka ne bakaaba obwavu.
Yagambye nti, Gavumenti ya NRM ekoze buli ekisoboka okuggya abantu mu bwavu ate ekyayongera okussa ensimbi mu Pulogulaamu zaayo ez’okulwanyisa obwavu ngab PDM n’asaba abantu okuzijjumbira Yagambye nti ekizibu kya Uganda si bwavu, wabula bantu kudda mu kwebaka n’agamba nti abantu bwe banaayiga okukola bajja kugaggawala n’emirimu gye bakaaba bagyerabire bayige okutandikawo egyabwe.
Yawadde ekyokulabirako ky’ensi ya Japan eterina byabugagga bya mu ttaka, gye batalima kyokka nga balina abantu obukadde 127. N’agamba nti, eyo bakola emirimu ne gifikkawo n’abuuza lwaki Bannayuganda tebasobola kutandikawo mirimu so nga waliwo abaava ku mirimu gya Gavumenti ne beetandikirawo egyabwe nga kati bagagga bavundu.
Bino Pulezidenti Museveni yabyogeredde Matale mu Disitulikiti ’e Buikwe bwe yabadde omugenyi omukulu ku mukolo gw’okukuza olunaku lw’ensi yonna olw’abakozi.
Yasuubizza okutumbula ebyobulimi, eby’obuvubi era n’awera okugoba abantu bonna mu ntobazzi.
Yagambye nti, kyetaagisa abakulira ebyenjigiriza okuyamba ku bayizi abamala gasoma kkoosi ezitalina mirimu nga; okumanya endowooza z’abantu n’abuuza egyo emirimu giri luddawa? Ku nsonga z’abakozi, yasuubizza okwogera okussa munkola ekya bannannyini makolero okuzimbira abakozi baabwe amayumba n’agamba nti kino ne NSSF ekisobola kyokka mu kifo ky’okukozesa ensimbi empitirivu ze balina okussa mu bintu nga bino badda mu kugula migabo mu makampuni ga Gavumenti n’asuubiza nti bano bwe banaalemwa, ajja kuyingizaawo ab’ekitongole kya Gavumenti ekizimbi (NHCC) kuba basobola okuzimbira abakozi amayumba ku nsimbi entonotono ku ttaka eririraanye amakolero nga Gavumenti y’eriguze. Abantu 50 okuva mu bitongole ebikuumaddembe n’abantu baabulijjo baaweereddwa emidaaliokubasiima olw’okutuukiriza obuvunaanyizibwa bwabwe mu mirimu gye bakola.