Amawulire

Poliisi e Mukono ekutte babiri ku by’okuwamba mwana ne basaba 1,500,000/-

Poliisi e Mukono ekutte babiri ku by’okuwamba mwana ne basaba 1,500,000/-

Nangobi ne Mutosi abaakwatiddwa
By: Bukedde Omusunsuzi, Journalist @NewVision

POLIISI e Mukono ekutte omuvubuka Mutosi Ivan, 24, nga mutuuze ku kyalo Galabi e Namataba Town Council mu disitulikiti y’e Mukono lwa kuwamba omwana wa muliraanwa we Precious Natukunda ow’emyaka 7 n’akanda abazadde
1,500,000/- okumubawa.
Mutosi okukwatibwa kyaddiridde maama w’omwana, Slyvia Natukunda ne bba Byaruhanga Kanazio okuddukira ku poliisi y’e Namataba ne baggulawo omusango gw’okuwambibwa kw’omwana waabwe.
Poliisi y’e Namataba yakwataganye n’ey’e Mukono ne batandika omuyiggo okutuusa lwe baamukwatidde e Kasubi kwe kubalagirira wa gye yabadde akwese omwana era baamusanze mu loogi emanyiddwa nga Equator Guest House nga ne maneja waayo Anna Nangobi naye yakwatiddwa.
Mutosi yakkirizza nti okuwamba omwana n’okusaba ssente baasoose kumusindikirako 50,000/- n’apangisa loogi mwe yasula n’omwana. Wabula maneja Nangobi mu  kwewozaako yagambye nti, omuvubuka ono bwe yajja n’omwana yali tasobola  kukitegeera nti, yali amuwambye ku bazadde be kubanga bwe yamubuuza yamutegeeza nti, wuwe. Omwana Natukunda yategeezezza poliisi nti, Mutosi okumutwala yali amusuubizza okumugulira sswiiti.
Amyuka omwogezi wa poliisi mu Kampala n’emiriraano, Luke Owoyesigyire yakakasizza okukwatibwa kw’omuvubuka ono ne maneja wa loogi nti era baakutwalibwa mu kkooti bagasimbagane n’omulamuzi.