WALIWO omusajja ategerekese nga Keith King Mugisha nga kigambibwa nti ono y'akulira akabinja k'abantu abakukusa ebiragalalagala okwetoloola ensi yonna nga basinziira wano mu Uganda
Mugisha akwatiddwa abekitongole ki National Citizenship and Immigration Control wansi wa minisitule ey'ensonga z'omunda.

Solomon Mundeyi ng'alaga ebimu kubisangiddwa ewa Mugisha
Simon Mundeyi omwogezi wa minisitule ey'ensonga z'omunda agambye nti Mugisha yakwatiddwa mu kikweekweeto ekyakoleddwa abebyokwerinda e Nsasa mu munisipaali eye Kira mu Wakiso era nga munyumba ye mwasangiddwamu ne bannansi ba Nigeria babiri okuli Ikemefuna Testimony Udo ne Ikemefuna Anointing ng'okumukwata kyadiridde abebyokwerinda okutemezebwako abantu b'ekitundu abalude nga bamulaba ne bamwekengera.

Ebimu ku bintu ebisangiddwa ewa Mugisha
Mundeyi ayongeddeko nti mu nyumba ya Mugisha e Nsasa kubaddeko n'akampande akalaga nti maka g’ambasadda era nga gakuumibwa abantu abambala ebyambalo by’amaggye nga ne mukutambula akozesa emmotoka ennene nga Mercedes Benz ne Land Cruiser V8 eziriko n'obugombe kwosa okubaako sitiika z'ekikuungu ez'ekicupuli.
Mu byebasanze munju oluvanyuma lwokujaaza kuliko ebintu okuli emmundu ennene , basitoola, yunifoomu z’amaggye, engatto , Radio call, essimu eya sitelite n’amasasi ga basitoola.

Ebyambalo by'amagye ebisangiddwa ewa Mugisha
Mugisha era akwatiddwa ne pasipoota z’amawanga okuli Uganda, Eswatini , Brazil ,Belgium, Seychelles Island, Bungereza, Nigeria ne Kenya kwosa endaga muntu ez’amawanga ago era nti guno sigwemulundi ogusoose nga Mugisha akwatibwa ku misango egyekuusa kukukusa ebiragalalagala.

Endagamuntu ezisangiddwa ewa Mugisha ez'ensi 10
Mundeyi agambye nti ono bakyamunonyerezaako wabula nti byebakafunawo biraga nti Mugisha yetagibwa nemu ggwanga erya Brazil ku nsonga zeezimu ate nti nemu mwaka gwa 2010, yakwatibwako ku nsonga zezimu ku kisaawe kya Jomo Kenyatta international airport nasibwa emyaka 12.