Amawulire

Minisita ayingidde mu nkaayana z’ettaka ly’ekkanisa

MINISITA omubeezi ow’ebyettaka, Dr. Sam Mayanja ayingidde mu nkaayana z’ettaka eziri wakati w’ekkanisa ya Uganda ne ffamire ya Ham Mukasa erisangibwa e Kyaggwe.

Minisita Mayanja
By: Bukedde Omusunsuzi, Journalist @NewVision

MINISITA omubeezi ow’ebyettaka, Dr. Sam Mayanja ayingidde mu nkaayana z’ettaka eziri wakati w’ekkanisa ya Uganda ne ffamire ya Ham Mukasa erisangibwa e Kyaggwe.
Mayanja yasinzidde mu pulogulaamu ya Mugobansonga Special ebeera ku Bukedde FM buli lwa Ssande ku ssaawa 1:00 ey’akawungeezi ekubirizibwa Terah Kaaya.
Yagambye nti Ham Mukasa eyaliko omuwandiisi wa Sir Apollo Kaggwa yafuna ettaka ddene mu bitundu bya Uganda nga talina ky’ayinza kulikozesa era y’emu ku nsonga lwaki oluvannyuma yatandika okuligaba erimu n’aliwa ekkanisa ya Uganda era kwe baazimba ekitebe ky’obulabirizi bw’e Mukono era waazimbibwa ne yunivasite ya UCU e Mukono.
Mu kunoonyereza okwakolebwa minisitule, baakizuula nga Ham Mukasa yagabira Gavana George Fredrick Illman liizi ku ttaka lino. Mu kiseera kye kimu mu 1927, Gavana naye yawa ekkanisa ‘sub lease’ ku ttaka lye limu nga ya myaka 99. Nga byonna bitegeeza nti emyaka bwe giriggwaako nga liddira nnannyini.
Mu 1943, ab’ekkanisa ya Uganda baabulwako ebiwandiiko bya liizi era ne baddayo ew’omuwandiisi w’ettaka abawe ekyapa ekyenjawulo (special title). Ekyewuunyisa ate ekkanisa yaweebwa ekyapa kya Freehold, ekyefanaanyiriza ekya Mailo nga kiraga nti balina obwannannyini obw’enkomeredde.
Ekkanisa kye yakola yakyusa ettaka lino n’eriteeka mu kkampuni yaayo eya UCU Holdings era kati gy’ekozesa okulaga nti be bannannyini abatuufu era gye bakozesa okugoba abeebibanja ku ttaka lino.
“Ebyakolebwa biraga nti mwalimu obufere kuba tewali ngeri kyapa kya liizi ate gye kiyinza kufuukamu kya freehold. Mu mbeera eno ng’ettaka lirina ebyapa bibiri ebiryogerako, tutunuulira ekyasooka nti kye kiba ekituufu kuba tewali ngeri gye lisobola okuvaamu ‘empologoma,” bwe yagambye.
Minisita amagezi ge yawadde enjuuyi zombi kwe kutuula bakkaanye kuba liizi y’ekkanisa egenda kuggwaako mu myezi esatu gyokka. Bayinza okubawaamu ssente ne bagyongerayo oba okubaako entegeeragana endala gye batuukako ku nkozesa y’ettaka.
Minisita ayingidde mu nkaayana z’ettaka ly’ekkanisa
Lwakubiri May 5, 2026
AMAWULIRE
8 Bukedde
Minisita Mayanja
Enjuuyi zombi bwe zinaaba ziremaganye wajja kubeerawo okunoonyereza kuba minisita yakitegeddeko nti waliwo abantu abaataddemu obukadde 200 okulemesa fayiro ya Ham Mukasa okutambula.
“Amawulire bwe nagawulira, nakubira kamisona avunaanyizibwa ku byapa ne mmugamba akwate fayiro, kyokka era ekyewuunyisa baagibuzizzaawo dda”. Ekkanisa kye yeerabidde nti ffamire ya Ham Mukasa ya bantu abaasoma edda abalina liizi eyasooka ey’emyaka 99 gye baakola ne Gavana awamu ne ‘sub lease’ ekkanisa gye yafuna ng’eraga w’ekoma.
Minisita yakubira Ssaabalabirizi Stephen Kazimba essimu ng’ayagala batuule bulungi bakkiriziganye okusika omuguwa kuggweewo. Bwe yawandiikira ekkanisa ku nsonga eno baamuddamu mu bujjuvu kyokka n’akizuula nga waliwo bye baali tebamanyi ku nsonga z’ettaka era yabaanunula n’abawabula kyokka ensonga kirabika tebazitutte nga kikulu.
Yabadde alina okugenda mu kitundu kyennyini yeetegereze embeera, kyokka RDC n’amukubira essimu ng’amutegeeza ng’embeera y’ebyokwerinda bw’eteri nnungi era n’ayimiriza.
Ensonga z’ekika kino Mayanja agamba azze azigonjoola nga bwe yakola e Kasese gye yagende n’akubayo olukung’aana olwetabwamu abantu abasukka 3,000 n’aba-nnyonnyola. Eno y’emu ku nsonga lwaki abaayo baakoowa oludda oluvuganya era mu kulonda okuwe-dde, baalonze ba NRM bokka ne bagobayo abooludda oluvuganya.
Kyokka ne ffamire ya Ham Mukasa wadde nga be batuufu ku nsonga eno, yabawadde amagezi batuule n’abeebibanja abaliko bakkaanye baleme kulowooza nti bagenda kubagoba kuba nabo balina obwannannyini ku ttaka.Kye bagamba
BADRU MUGENYI
Ng’akozesa obuyinza bwa Ssemateeka n’ebiragiro ebizze biweebwa Pulezidenti, Mayanja yagambye nti tayinza kukkiriza muntu agoba wa kibanja ku ttaka. Kyokka era mumalirivu nnyo era ajja kufuna olunaku yeesitule agende ku ttaka ayongere okubangula abantu ku by’ettaka kuba abamu abamu bababonyaabonya lwa butamanya