Amawulire

Enkalu mu kununula ssente ezikwekebwa abali b’enguzi mu mawanga amalala

Enkalu mu kununula ssente ezikwekebwa abali b’enguzi mu mawanga amalala

Pulezidenti Museveni lwe yakulembera okutambula okulwanyisa obuli bw’enguzi e Kololo mu 2019
By: Kizito Musoke, Journalist @New Vision

ABALI b’enguzi mu Uganda bongedde okuyiiya obukodyo bw’okukweka ssente ze babba mu ggwanga, ne bazitwala mu mawanga amalala.
Obubbi buno busuza Gavumenti ng’ekukunadde, olw’obukalubu obuli mu kununula ssente ezimaze okusala ensalo. Abakugu bagamba nti obubbi buno bwa bulabe nnyo kuba bufiiriza nnyo Gavumenti ate bwavuwaza n’abantu ba bulijjo. Anti buggya ssente wano ne zigenda mu mawanga amalala, bizinensi ezizikolebwamu ne ziganyula Gavumenti z’eggwanga eryo okuyita mu musolo, ate n’abantu baayo ne bafuna emirimu, Munnayuganda n’asigala nga yeerya nkuta.

Samuel ne Maron

Samuel ne Maron


Okusinziira ku kaliisoliiso wa Gavumenti, kiteeberezebwa nti obuwumbi 10,000 ze zibulankanyizibwa buli mwaka mu buli bw’enguzi mu Uganda.
Lipooti y’ekitongole ky’ensi yonna ekirwanyisa enguzi ekya Transparency International ey’omwaka oguwedde (2025), yalaga nga Uganda ekwata kya 148 mu nsi yonna mu nguzi. Okusinziira ku kitongole kino, enguzi mu Uganda yeeyongedde kubanga mu 2024, Uganda yakwata kya 140, ekitegeeza nti enguzi ekula buli olukya.
LWAKI KAWEEFUBE TANNAVAAMU BIBALA?
Ssente ezimu abali b’enguzi bazikweka munda mu ggwanga, naye ettundutundu bazikweka mu mawanga amalala mu byobugagga eby’enjawulo.
Mu Uganda, kaweefube w’okununula ssente ezibbiddwa, Gavumenti emwongeddemu amaanyi okuyita mu kaliisoliiso. Okusiziira ku lipooti ya Kaliisoliiso wa Gavumenti ey’omwaka gw’ebyensimbi 2024/25, Gavumenti yanunula obuwumbi 12 n’obukadde 200 ezaali zibbiddwa, nga zino zaalinnya okuva ku buwumbi butaano mu 2023/24. Wabula zino ziva munda mu ggwanga.
Mu kunoonyereza Bukedde kwe yakoze, ebitongole ebirwanyisa enguzi bikaluubirizibwa okutegeera ssente ezikukusiddwa ne zigenda mu mawanga amalala, ate okununula ebyobugagga bye bazikozeemu ne kifuukira ddala ekizibu.
KAWEEFUBE AKOLEDDWA
Uganda etadde omukono ku ndagaano ez’enjawulo n’ebitongole by’ensi yonna, kw’ossa amawanga amalala, okugiyambako mu kununula ebintu ebikwekweddwa mu mawanga ago. Mu ndagaano zino mulimu ey’ekibiina ky’amawanga amagatte eya United Nations Convention Against Corruption (UNCAC), eyatandika okukola mu 2004.
Ku lukalu lwa Africa, Uganda eri mu ndagaano ya African Union Convention on Preventing and Combating Corruption (AUCPCC), nga nayo egenderera okubangawo enkolagana wakati w’amawanga ga Africa mu kulwanyisa enguzi.

Ssente enkumuliitu bwe ziti, ze zimu ku zibbibwa mu nguzi ne zitwalibwa mu mawanga amalala.

Ssente enkumuliitu bwe ziti, ze zimu ku zibbibwa mu nguzi ne zitwalibwa mu mawanga amalala.

Endagaano endala ya kibiina ky’amawanga amagatte eya United Nations Convention Against Transnational Organized Crime ey’omwaka 2000, ng’eno erwanyisa obumenyi bw’amateeka obusala ensalo omuli ne ssente z’enguzi.
Uganda nayo ekoze amateeka omuli; erirwanyisa enguzi eryaAnti-Corruption Act, 2009 (lyakolebwamu ennongoosereza mu 2015) eririmu obuwaayiro obuwa Uganda olukusa okununula ssente abali b’enguzi ze basize mu mawanga amalala.
Waliwo n’etteeka erirwanyisa okukukusa ssente erya Anti-Money Laundering Act, 2013 eryakolebwa okulwanyisa okutambuza ssente ezimenya amateeka okusala ensalo, era ne liteekawo n’ekitongole kya Financial Intelligence Authority (FIA) ekiketta okulaba ng’abantu tebakukusa ssente.
Mu mawanga ga East Africa, Uganda mmemba mu kitongole kya Asset Recovery Inter-Agency Network for East Africa (ARIN-EA), ekiyamba amawanga ga East Africa okukwatagana okuzzaayo ebyobugagga ebiba bikoleddwa mu ggwanga erimu nga ssente zivudde mu nguzi. Kuno kw’ossa Kaliisoliiso wa Gavumenti akola okunoonyereza ku ssente ezibbiddwa, n’ekitongole ekiwaaba emisango ekya Directorate of Public Prosecution, nga byonna binoonyereza n’okununula ssente za Bannyuganda ezikwekebwa mu mawanga amalala.
Wabula wadde ebitongole bino weebiri, n’endagaano Uganda eyingidde mu nnyingi, kyokka omulimu gw’okununula ssente ezimaze okusala ensalo gukyali muzibu nnyo, ekiwadde abakenuzi ebbeetu okubba ssente ne bazitwala mu mawanga amalala nga bwe baagala.
KIKI EKIRINA OKUKOLEBWA?
Agaba yagambye nti, etteeka erirung’amya enkolagana y’amawanga mu kulwanyisa obukenuzi erya Mutual Legal Assistance Act, Gavumenti esaana erikole mu bwangu, liyambe ebitongole byayo okuli ekya Kaliisoliiso, omuwaabi wa Gavumenti, Poliisi n’ebirala okukola obulungi emirimu.
Era yawadde Gavumenti amagezi okulwanirira ebitongole by’obwannakyewa okusigala nga bigumu, kubanga biyamba nnyo Gavumenti mu kukunga abantu okwenyigira mu lutalo lw’enguzi, okukola okunoonyereza okuyamba Gavumenti n’okuyambako mu kukola amateeka. N’agamba nti, ebitongole by’obwannakyewa biyambye nnyo Nigeria mu kulwanyisa enguzi.
Era yalaze nti twetaaga ekitongole ekyetengeredde kirondoole ssente za Uganda ababbi ze bakukusa mu mawanga amalala ate n’etteeka ekkakali ne libagibwa.

Nabisenke Vicky

Nabisenke Vicky


LWAKI MUNNAYUGANDA BIKUKWATAKO?
Agaba agamba nti, ssente ezibbibwa zibeera za Munnayuganda ezandizimbye enguudo, amalwaliro, amasomero n’ebirala. Era nti, buli lwe zifuluma eggwanga, kyongera obwavu mu bantu kubanga ebikolebwa okusitula embeera z’abantu biba tebijja kukolebwa.
N’agattako nti, Gavumenti efiirwa emisolo kuba ssente ezandisigadde mu ggwanga ne zikuza ebyenfuna, ate zigenda mu mawanga malala. N’agamba nti, ssinga etteeka likolebwa, terikoma ku nguzi yokka wabula liyamba ne mu misango emirala. Okugeza; abatta abantu ne beekweka mu mawanga amalala, kiba kyangu okubayigga.
Ate Wandera yakubirizza Bannayuganda okuloopa abakukusa ssente, kubanga oluusi wabaawo abamanya naddala mu makubo ssente ezo mwe ziyita, naye ne basirika. Wandera agamba, olutalo ku nguzi lukwata ku buli muntu kuba ffenna etukoseza wamu 

Emiziziko mu kununula ssente n’ebyobugagga mu mawanga amalala

OKUSINZIIRA ku Marlon Agaba, akulira ekitongole ky’obwannakyewa ekirwanyisa enguzi ekya Anti-Corruption Coalition-Uganda, ekisinga okutawaanya Uganda, terina tteeka lirambulukufu ku ngeri y’okununulamu ssente zaayo ababbi ze basize mu mawanga amalala, ng’ekolagana ne Gavumenti zaayo, kye bayita Mutual Legal Assistance. N’agamba nti, kino kikaluubiriza Gavumenti endala okugabana ne Uganda amawulire ag’ekikessi ku nguzi.
Ate mu mawanga agamu, Agaba agamba nti, kizibu okununula ssente ezisigiddwaayo kuba amawanga ago gazaagala nnyo era gakuuma ebikwata ku bizinensi z’abalyake nga bya kyama. Amawanga gano agamanyiddwa nga Offshore Countries, tekiba kyangu kununulayo ssente.
Ate akulira ekitongole ekirwanyisa okukukusa n’okwoza mu ssente ekya Financial Intelligence Authority, Samuel Wandera Were, yagambye nti obutaba na tteeka lyetengeredde ku nsoga eno, kiremesezza Uganda okununula ssente ababbi ze basiga mu mawanga amalala, kubanga endagaano zonna Uganda z’erimu tezisobola kukola bulungi.
N’agamba nti, olw’obutabaawo tteeka, bw’okwata akukusizza ssente n’azitwala mu mawanga amalala, kizibu okumuwangula mu kkooti kuba weetaaga; ebiwandiiko bya bbanka, ebya kkampuni, abajulizi ate nga byonna biri mu ggwanga gye yazikweka!
Akulira ekitongole ekivunaanyizibwa ku kununula ebintu abali b’enguzi bye bakoze mu mawanga amalala mu ofiisi y’omuwaabi wa Gavumenti, Vicky Nabisenke Ssendikwanawa yagambye nti, ensi ezimu abali b’enguzi gye batereka ssente Uganda terina ndagaano nazo ku kuzza ssente oba ebyobugagga bino. Kino kikalubya okubinunula kubanga oteekwa okulaga amateeka kw’osinziira n’okulaga nti omusango gw’ovunaana omulyake gumenya amateeka mu Uganda ne mu nsi eyo gye yasiga ssente.
Emitendera mw’oyita nagyo Nabisenke agamba nti miwanvu era birwawo ne mumaliriza nga temutuuse ku kinyusi