Amawulire

Abavubuka basatu abagambibwa nti baludde nga beeyita amannya okuli Natasha Museveni Karugire ne Haji Hamis Kiggundu ne banyaga ku bantu ssente

ABAVUBUKA basatu abagambibwa nti baludde nga beeyita amannya okuli Natasha Museveni Karugire ne Haji Hamis Kiggundu ne banyaga ku bantu ssente, bakwatiddwa poliisi e Iganga.

Abavubuka abakwatiddwa
By: Godfrey Kigobero, Journalist @New Vision

ABAVUBUKA basatu abagambibwa nti baludde nga beeyita amannya okuli Natasha Museveni Karugire ne Haji Hamis Kiggundu ne banyaga ku bantu ssente, bakwatiddwa poliisi e Iganga.

Abakwate , kuliko Hassan Mugoya 27 nga musuubuzi era nga mutuuze w'e Nampirika A mu muluka gw'e Bukaye mu Ggombolola y'e Nakalama e Iganga, Ashrif Kyakatuka ne Asuman Isanga  nga nabo batuuze ku kyalo kyekimu.

Baakwatiddwa abasirikale ba poliisi okuva e Kiwatule mu Kampala nga bali wamu n'abalala okuva e Iganga . Kitegeezeddwa nti bano baaggulawo emikutu gya Tiktok nga beyita Natasha Karugire muwala wa pulezident  n'ekigendererwa eky'okubba n'okufera.

Omwogezi wa poliisi mu Busoga East , Micheal Kasadha, agambye nti nga Feb 03 omwaka guno, waliwo era be baabakwata nga beyita Natasha era ne babaggalira.