Amawulire

Abantu abakunukkiriza mu 100 bakwatiddwa ku bigambibwa nti baludde nga benyigira mu bubbi bwa piki-piki n'ebijambiya okubba ssente obusawo n'amasimu

Abantu abakunukkiriza mu 100 bakwatiddwa ku bigambibwa nti baludde nga benyigira mu bubbi bwa piki-piki n'ebijambiya okubba ssente obusawo n'amasimu.

Abantu abakunukkiriza mu 100 bakwatiddwa ku bigambibwa nti baludde nga benyigira mu bubbi bwa piki-piki n'ebijambiya okubba ssente obusawo n'amasimu
By: Godfrey Kigobero, Journalist @New Vision

Abantu abakunukkiriza mu 100 bakwatiddwa ku bigambibwa nti baludde nga benyigira mu bubbi bwa pikipiki n'ebijambiya, okubba ssente, obusawo n'amasimu. 

Ekikwekweto ekisoose, kikoleddwa e Masajja A cell ku lw'e Busaabala gye bakwatidde Fred Byakatonda ng'ali ne banne abalala abagambibwa okubba pikipiki nnamba UMA 399GY Haojue okuva e Najjankumbi nti era nga bagezaako okugiggyamu akuuma akalondoola. 

Ate ekikwekweto ekirala, ekikoleddwa Clock Tower, Katwe Kinyoro, Nsuwa zooni, Kibuye nga 32 bakwatiddwa. 

E Kitintale zooni 10 , Mbuya, e Nakawa ku bitaala ne Lugogo, bakutte 10. Ate ku tropical bar e Kira mu Wakiso bakutte 36.

Omwogezi wa poliisi mu Kampala Recheal Kawala, agambye nti ebikwekweto bikyagenda mu maaso