Poliisi e Mbale eri mu kubuuliriza ku muyizi wa University asangiddwa mu kasenge mw'abadde asula nga mufu.
Ku buliri, wasangiddwawo akapapula akalaga nti abadde atubidde mu mabanja agawerako era nga kyaliba nga kyekivuddeko okufaakwe.
Afudde, ye Solomon Icodo 26 ng'abadde muyizi wa Busitema University mu Kisenyi cell mu Nabuyonga ward e Mbale.
Omulambo gwe, gulabiddwa munne bwe babadde basula mu kasenge, Emmanuel Odelok era ng'ebintu munda bibadde bisaasaanye.
Omwogezi wa poliisi e Mbale, Rogers Taitika, agambye nti omulambo gutwaliddwa mu ggwanika ly'eddwaliro e Mbale ng'okunoonyereza kugenda mu maaso.